Makko 14:1-72 LGCB2014 - Bible AI

1Embaga eyʼOkuyitako[13], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.

2Ne bagamba nti, “Si mu kiseera kyʼembaga yʼOkuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

3Mu kiseera ekyo Yesu ngʼali Besaniya mu nnyumba yʼomusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ngʼatudde, omukazi nʼayingira ngʼalina eccupa, eyalimu amafuta agʼakaloosa agʼomuwendo omungi. Nʼayasa eccupa nʼasiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu.

4Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki?

5Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

6Naye Yesu nʼabagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi.

7Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo.

8Akoze kyʼasobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta agʼakaloosa nga bukyali, ngʼaguteekateeka okuziikibwa.

9Ddala ddala mbagamba nti Buli kifo kyonna Enjiri gyʼeneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa kyʼomukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

10Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi nʼababiri, nʼagenda eri bakabona abakulu alabe bwʼanaalyamu Yesu olukwe amubawe.

11Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne bajjula essanyu, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bwʼatyo Yuda nʼatandika okunoonyereza engeri entuufu wʼanaaweerayo Yesu.

12Awo ku lunaku olusooka olwʼembaga yʼAbayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gwʼendiga ogwʼOkuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gyʼonooliira Embaga eyʼOkuyitako.”

13Nʼatuma babiri ku bayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa yʼamazzi, mumugoberere.

14Muyingire mu nnyumba mwʼanaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze nʼabayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga eyʼOkuyitako kiri ludda wa?’

15Ajja kubatwala mu kisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa nʼokutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bategeka Embaga eyʼOkuyitako.

17Obudde bwe bwawungeera nʼatuuka nʼabayigirizwa be ekkumi nʼababiri.

18Bwe baali batudde nga balya, Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”

19Ennaku nʼebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”

20Nʼabagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi nʼababiri, akoza nange mu kibya.

21Omwana wʼOmuntu agenda ngʼEbyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana wʼOmuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”

22Awo bwe baali balya, Yesu nʼaddira omugaati, ne yeebaza, nʼagumenyaamenyamu, nʼagabira abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”

23Ate nʼaddira ekikompe ne yeebaza nʼakibawa; bonna ne banywa.

24Nʼabagamba nti, “Guno musaayi gwange ogwʼendagaano, oguyiika ku lwʼabangi.

25Ddala ddala mbagamba nti Siriddayo kukomba ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”

26Awo ne bayimbayo oluyimba, ne balyoka bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

27 Yesu nʼabagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, endiga ne zisaasaana.’

28Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”

29Peetero nʼamugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”

30Yesu nʼamugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”

31Peetero nʼakiggumiza nnyo ngʼagamba nti, “Ne bwe kinanneetaagisa okufiira awamu naawe, siikwegaane.” Nʼabalala bonna ne beerayirira bwe batyo.

32Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.”

33Nʼatwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; nʼatandika okweraliikirira nʼokuteganyizibwa mu mutima.

34Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”

35Ne yeeyongerako mu maaso katono, nʼagwa wansi nʼasaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka.

36Nʼasaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gyʼoli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.”

37Nʼakomawo gye bali, nʼabasanga nga beebase. Nʼagamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu?

38Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”

39Ate nʼabaleka awo nʼaddayo, nʼasaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye.

40Nʼakomawo we bali, nʼabasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.

41Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu nʼabagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana wʼOmuntu aweebweyo mu mikono gyʼabalina ebibi.

42Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”

43Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi nʼababiri) nʼajja ngʼali nʼekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.

44Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.”

45Awo baali baakatuuka Yuda nʼalaga eri Yesu, bwe yamutuukako nʼagamba nti, “Omuyigiriza!” Nʼamugwa mu kifuba.

46Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza.

47Naye omu ku baali bayimiridde awo nʼasowolayo ekitala nʼasalako okutu kwʼomuddu wa Kabona Asinga Obukulu.

48Yesu nʼababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ngʼomunyazi, nʼebitala nʼemigo okunkwata?

49Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.”

50Bonna ne bamwabulira ne badduka.

51Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ngʼavaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata,

52nʼabeesumattulako, ne basigaza olugoye nʼadduka bwereere.

53Awo Yesu nʼatwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼabannyonnyozi bʼamateeka.

54Peetero nʼavaako walako ennyuma ngʼajja agoberera, nʼayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, nʼatuula ku kyoto nʼabaweereza we baali bootera omuliro.

55Bakabona abakulu, nʼOlukiiko Olukulu olwʼAbayudaaya,[14] baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula.

56Bangi baayogera ebyʼobulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.

57Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti,

58“Twamuwulira ngʼayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa nʼemikono gyʼabantu, naye oluvannyuma lwʼennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gyʼabantu.’ ”

59Naye era nʼolwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.

60Awo Kabona Asinga Obukulu nʼayimirira, nʼabuuza Yesu nti, “Tolina kyʼoddamu ku bino bye bakwogerako?”

61Yesu nʼatamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu nʼamubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana wʼoyo atenderezebwa?”

62Yesu nʼaddamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ngʼakomawo mu bire ebyʼeggulu.”

63Awo Kabona Asinga Obukulu nʼayuza ebyambalo bye, nʼagamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi?

64Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?”

64Bonna ne bamusalira gwa kufa.

65Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” Nʼabaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.

66Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu nʼajja.

67Bwe yalaba Peetero nʼamwetegereza ngʼayota omuliro, nʼamugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”

68Peetero ne yeegaana ngʼagamba nti, “Simanyi wadde okutegeera byʼoyogerako!” Nʼafuluma nʼalaga ebweru mu kisasi, enkoko nʼekookolima.

69Omuwala oli nʼalengera Peetero, nʼategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.”

70Peetero nʼayongera okwegaana.[15]

70Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”

71Peetero nʼatandika, okukolima nʼokulayira nga bwʼagamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”

72Amangwago enkoko nʼekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero nʼajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero nʼatulika nʼakaaba amaziga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.