1Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabannyonnyozi bʼamateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.
2Piraato nʼabuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?”
3Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi.
4Naye Piraato nʼaddamu nʼamubuuza nti, “Lwaki toliiko kyʼoddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”
5Naye Yesu nʼasirika busirisi, era Piraato nʼamwewuunya nnyo.
6Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye.
7Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olwʼokutta abantu nga bakola obwegugungo.
8Awo Piraato nʼagenda eri ekibiina nʼababuuza nga bwe yateranga okukola.
9Nʼababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka wʼAbayudaaya?”
10Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya.
11Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.
12Naye Piraato nʼaddamu nʼababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka wʼAbayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”
13Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”
14Piraato nʼababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”
15Awo Piraato okusanyusa ekibiina, nʼabasumululira Balaba. Nʼawaayo Yesu akomererwe ngʼamaze okumukuba.
16Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana.
17Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe.
18Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka wʼAbayudaaya!”
19Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira.
20Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.
21Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni owʼe Kuleene,
22Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo kyʼEkiwanga.
23Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye nʼamugaana.
24Awo ne bamukomerera ku musaalaba.
25Baamukomerera ku ssaawa ssatu ezʼenkya.
26Ne batimba ekipande waggulu wʼomutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti, “KABAKA WʼABAYUDAAYA.”
27
28Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu nʼabamenyi bʼamateeka.”
29Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu nʼokugizimbira ennaku ssatu,
30weerokole, oveeyo ku musaalaba.”
31Bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola!”
32“Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” Nʼabanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.
33Okuva ku ssaawa mukaaga ezʼomu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ezʼolweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna.
34
35Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti Ayita Eriya.
36Awo ne wabaawo eyadduka nʼaddira ekyangwe nʼakijjuza wayini omukaatuufu, nʼakisonseka ku luti, nʼakiwanika eri Yesu anyweko, nga bwʼagamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja nʼamuwannulayo!”
37Awo Yesu nʼakoowoola nʼeddoboozi ddene, nʼawaayo obulamu bwe.
38Eggigi
39Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja kyʼabaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, nʼagamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”
40Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose.
41Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, nʼabalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
42Awo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti,
43Yusufu owʼe Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olwʼAbayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, nʼaba muvumu nʼagenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu.
44Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. Nʼatumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, nʼamubuuza obanga Yesu yafudde dda.
45Bwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato nʼawa Yusufu omulambo.
46Awo Yusufu nʼagula olugoye olwa linena, nʼamuggya ku musaalaba, nʼamuzinga mu lugoye olwa linena, nʼamuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, nʼayiringisa ejjinja nʼaggalawo omulyango gwʼentaana.
47Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.