Makko 16:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa ebyʼokusiiga omulambo gwa Yesu.

2Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ngʼenjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana.

3Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gwʼentaana.

4Naye bwe baatuukawo, ne balaba ngʼejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo.

5Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ngʼayambadde engoye enjeru, ngʼatudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!

6Naye nʼabagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.

7Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”

8Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako nʼomu gwe bategeeza olwʼokutya.

9Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, nʼasooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu.

10Maliyamu nʼagenda eri abayigirizwa, nʼabasanga nga bakaaba era nga bakungubaga.

11Nʼababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!

12Oluvannyuma lwʼebyo, Yesu ngʼali mu kifaananyi kirala nʼalabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo.

13Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.

14Oluvannyuma Yesu nʼalabikira abayigirizwa ekkumi nʼomu bwe baali nga balya. Nʼabanenya olwʼobutakkiriza bwabwe, nʼolwʼobukakanyavu bwʼemitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ngʼamaze okuzuukira.

15Nʼabagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.

16Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.

17Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya.

18Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

19Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, nʼatwalibwa mu ggulu nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

20Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama nʼabeeranga nabo, nʼanywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ngʼabakozesanga ebyʼamagero.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.