Makko 2:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu nʼakomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka.

2Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; nʼababuulira Enjiri.

3Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ngʼasituliddwa abasajja bana.

4Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olwʼekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ngʼali ku katanda ke.

5Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, nʼagamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.”

6Naye abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti,

7“Ono ayinza atya okwogera bwʼatyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?”

8Amangwago Yesu nʼamanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka nʼababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe?

9Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule?

10Naye mmwe okusobola okutegeera ngʼOmwana wʼOmuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” nʼagamba eyali akoozimbye nti,

11“Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.”

12Awo omusajja nʼasituka, amangwago nʼasitula akatanda ke nʼafuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”

13Awo Yesu nʼaddayo nate ku lubalama lwʼennyanja ekibiina kyʼabantu ne bajja gyʼali, nʼabayigiriza.

14Awo bwe yali ngʼatambula nʼalaba Leevi mutabani wa Alufaayo ngʼatudde we yasoloolezanga omusolo, nʼamugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi nʼasituka nʼamugoberera.

15Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ngʼali wamu nʼabawooza, nʼabalina ebibi, nʼabayigirizwa be, ngʼabantu bangi bamugoberedde,

16abannyonnyozi bʼamateeka nʼAbafalisaayo ne baalaba Yesu ngʼalya nʼabalina ebibi nʼabawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya nʼabawooza nʼabalina ebibi?”

17Yesu bwe yakiwulira nʼabagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”

18Abayigirizwa ba Yokaana nʼabʼAbafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana nʼabayigirizwa bʼabafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”

19Awo Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala abali nʼawasiza omugole bayinza batya okusiiba, ngʼawasizza omugole ali nabo?

20Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bwʼalibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba.

21Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, nʼekituli ne kyeyongera okugaziwa.

22Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo zʼamaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, nʼensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”

23Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro yʼemmere eyʼempeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba byʼemmere eyʼempeke.

24Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.”

25Yesu nʼabaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga nʼenjala ngʼemuluma, ye ne be yali nabo,

26bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, nʼalya emigaati egyʼokulaga nʼawaako nʼabo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.”

27Nʼabagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti.

28Noolwekyo Omwana wʼOmuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>