Makko 3:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.

2Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire.

3Yesu nʼagamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.”

4Nʼabagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu.

5Yesu nʼabatunuulira ngʼakambuwadde era nga munakuwavu nnyo olwʼobukakanyavu bwʼemitima gyabwe, nʼagamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Nʼagolola omukono gwe, ne guwona.

6Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nʼAbakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.

7Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera.

8Nʼabalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, nʼabalala mu Idumaya, nʼabalala ne bava emitala wʼomugga Yoludaani nʼokwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina kyʼabantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gyʼali.

9Yesu nʼagamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olwʼekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza.

10Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olwʼendwadde zaabwe.

11Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”

12Naye nʼagikomako gireme okumwatuukiriza.

13Awo Yesu nʼalinnya ku lusozi, nʼayita abo be yayagala, ne bajja gyʼali.

14Nʼalonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira.

15Nʼabawa nʼobuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi nʼababiri be yalonda be bano:

16Awo nʼalonda ekkumi na babiri era be bano: Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne

17Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana bʼOkubwatuka.”

18Andereya, ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo ne Saddayo, ne Simooni, Omukananaayo,

19ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.

20Awo Yesu nʼayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate wʼali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya.

21Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse.

22Naye abannyonnyozi bʼamateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bwʼakozesa okugoba baddayimooni.”

23Awo Yesu nʼabayita nʼayogera nabo mu ngero ngʼagamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani?

24Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo.

25Nʼennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo.

26Ne Setaani bwʼatyo bwʼalwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka.

27Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wʼamaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba nʼalyoka anyaga ebintu bye.

28Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu kyʼakola kirisonyiyibwa abaana bʼabantu, ebibi nʼokuvvoola kwonna kwe bavvoola.

29Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe nʼemirembe naye alisingibwa omusango olwʼekibi ekyʼemirembe nʼemirembe.”

30Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”

31Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gyʼali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo.

32Ekibiina kyʼabantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”

33Naye nʼabaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”

34Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, nʼabagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange!

35Kubanga buli muntu akola Katonda byʼasiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>