Makko 4:1-41 LGCB2014 - Bible AI

1Ate era nʼatandika okuyigiriza ku lubalama lwʼennyanja. Ekibiina kyʼabantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato nʼayigiriza ngʼatudde omwo.

2Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. Nʼabayigiriza ngʼagamba nti,

3“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo.

4Bwe yali ngʼazimansa ngʼasiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali gʼekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya.

5Nʼendala ne zigwa ku ttaka eryʼekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu.

6Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu.

7Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala.

8Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, nʼendala kikumi.”

9Nʼabagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”

10Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼabantu abalala, ne bamubuuza amakulu gʼengero ezo ze yabagerera.

11Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”

12 “Balaba bulabi naye nga tebeetegereza, era nʼokuwulira bawulira naye tebategeera, si ku lwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”

13“Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza?

14Omusizi asiga ekigambo yʼasiga.

15Ate ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani nʼajja nʼakibatwalako.

16Ate ensigo ezaagwa ku kyaziyazi, gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza nʼessanyu.

17Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olwʼekigambo amangwago babivaako.

18Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo,

19naye okweraliikirira nʼokusikirizibwa ebyʼobugagga nʼokwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala.

20Ettaka eddungi gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, nʼabalala kikumi.”

21Awo Yesu nʼababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala nʼagivuunikako ekibbo oba nʼagiteeka wansi wʼekitanda? Naye omuntu bwʼakoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu?

22Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu.

23Alina amatu agawulira awulire.

24Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza.

25Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako nʼebyo byʼalina.”

26Awo Yesu nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa nʼomusizi asiga ensigo mu ttaka.

27Ekiro yeebaka, nʼemisana ne yeekolera byʼayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi.

28Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba byʼeŋŋaano.

29Eŋŋaano bwʼeyengera omusizi ayanguwa mangu nʼakwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”

30Awo Yesu nʼayongera nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya naki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola?

31Bufaananyizibwa nʼakasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ezʼoku nsi,

32naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ezʼomu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”

33Yesu nʼabuulira abantu ekigambo kya Katonda ngʼakozesa engero nnyingi ezifaanana ngʼezo, nga bwe baasobolanga okuwulira.

34Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali nʼabayigirizwa be nʼabannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.

35Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tugende emitala.”

36Nʼaleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe.

37Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta nʼamayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi.

38Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”

39Nʼazuukuka nʼaboggolera omuyaga nʼagamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika nʼennyanja nʼeteekera ddala.

40Nʼababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

41Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Ono ye ani, embuyaga nʼennyanja gwe bigondera?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>