Makko 5:1-43 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne batuuka emitala wʼennyanja mu nsi yʼAbageresene.

2Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi nʼajja gyʼali ngʼava mu malaalo.

3Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba.

4Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu nʼokusiba amagulu ge nʼenjegere naye byonna ngʼabikutulakutula. Ne wataba na muntu wʼamaanyi ayinza kumusiba kumunyweza.

5Naye bulijjo yatambulanga emisana nʼekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bwʼakaaba era nga bwe yeesalaasala nʼamayinja.

6Awo bwe yalengera Yesu ngʼakyali walako ku nnyanja nʼadduka nʼagenda eryato we lyagoba, nʼasinza Yesu.

7Nʼaleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olwʼekisa kya Katonda, tombonyaabonya.”

8Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.

9Awo Yesu nʼamubuuza nti, “Erinnya lyo ggwʼani?” Nʼaddamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.”

10Nʼamwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.

11Awo waaliwo eggana lyʼembizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya.

12Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.”

13Yesu nʼabakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana lyʼembizzi. Awo eggana lyʼembizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.

14Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze abʼomu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo.

15Ekibiina kyʼabantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ngʼayambadde bulungi era ngʼategeera bulungi, ne batya nnyo.

16Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko omwoyo omubi nʼebyatuuka ku mbizzi.

17Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!

18Yesu bwe yali ngʼalinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko omwoyo omubi nʼamwegayirira bagende bonna.

19Yesu nʼatakkiriza, nʼamugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama byʼakukoledde era nga bwʼakusaasidde.”

20Awo omusajja oyo nʼagenda ngʼatambula mu Dekapoli[2] (ebibuga ebyʼomu kitundu ekyo) ngʼabuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.

21Awo Yesu nʼawunguka mu lyato nate nʼatuuka emitala wʼennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira wʼali ku lubalama lwʼennyanja.

22Omukulu wʼekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro nʼajja nʼagwa wʼali,

23nʼamwegayirira nnyo ngʼagamba nti, “Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye.”

24Awo Yesu nʼagenda naye nʼekibiina kyʼabantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza.

25Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi nʼebiri nga mulwadde ekikulukuto kyʼomusaayi.

26Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi.

27Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bwʼatyo nʼajja nga yeenyigiriza mu kibiina kyʼabantu nʼatuuka emabega wa Yesu, nʼakoma ku kyambalo kye.

28Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.”

29Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto kyʼomusaayi ne kikalira nʼategeerera ddala ngʼawonye.

30Amangwago Yesu nʼawulira ngʼamaanyi agamuvuddemu, nʼakyukira ekibiina kyʼabantu nʼabuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?”

31Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti Ani ankutteko?”

32Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko.

33Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo nʼajja eri Yesu ngʼatidde nnyo era ngʼakankana, nʼagwa ku bigere bya Yesu nʼamutegeeza amazima gonna.

34Yesu nʼagamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”

35Naye yali akyayogera nʼomukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka ga Yayiro ne bamubikira nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.”

36Yesu nʼawulira ebigambo ebyayogerwa wabula nʼagamba omukulu wʼekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”

37Awo Yesu nʼaziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo.

38Bwe baatuuka mu nju yʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼalaba okwaziirana ngʼabantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe.

39Bwe yayingira mu nju nʼagamba abantu nti, “Mwaziiranira ki nʼokukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!”

40Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.

40Naye nʼabagamba bonna bafulume mu nju. Nʼatwala abazadde bʼomwana nʼabayigirizwa be abasatu nʼayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali.

41Yesu nʼakwata omwana ku mukono nʼamugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!”

42Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi nʼebiri, nʼayimirira nʼatambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.

43Naye Yesu nʼabakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo nʼabalagira bawe omwana ekyokulya.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>