1Yesu nʼava mu kitundu ekyo nʼabayigirizwa be nʼaddayo mu kibuga kyʼewaabwe.
2Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka nʼagenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bwʼayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa nʼebyʼamagero ebyenkanidde wano byʼakola?”
3Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana wʼomubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
4Yesu nʼabagamba nti,
5Naye teyakolerayo byamagero binene okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako nʼabawonya.
6Nʼawuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo nʼagenda ngʼayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
7Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼabatuma babiri babiri era nʼabawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
8Nʼabakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogwʼokutambuza gwokka nti,
9
10Nʼabagamba nti,
11
12Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.”
13Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.
14Awo Kabaka Kerode nʼawulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olwʼebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode nʼalowooza nti Yokaana Omubatiza yʼazuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”
15Naye abalala ne balowooza nti Eriya. Nʼabalala ne bagamba nti Nnabbi ngʼomu ku bannabbi abʼedda.
16Kerode bwe yabiwulira ye nʼagamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, yʼazuukide mu bafu.”
17Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza.
18Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.”
19Kerudiya nʼayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza.
20Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ngʼamuwa ekitiibwa ngʼomuntu wa Katonda owʼamazima era omutukuvu, era ngʼamukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ngʼemmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza byʼamugamba.
21Naye olwali olwo, Kabaka Kerode nʼafumba embaga ku lunaku lwʼamazaalibwa ge, nʼayita abakungu be nʼabakulu bʼabaserikale nʼabaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya.
22Awo muwala wa Kerudiya yennyini nʼajja nʼazina nnyo, nʼasanyusa Kerode nʼabagenyi be yali atudde nabo ku mbaga.
23Era nʼayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna kyʼononsaba yadde ekitundu kyʼobwakabaka bwange nnaakikuwa!”
24Awo omuwala nʼafuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina nʼamugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
25Omuwala nʼaddayo mangu eri kabaka nʼamusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
26Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, nʼanyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira nʼokweyama ngʼabagenyi be bawulira, nʼatya okumenya obweyamo bwe.
27Bwʼatyo nʼayita omuserikale we, nʼamulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale nʼagenda nʼatemako Yokaana omutwe,
28nʼaguleeteera ku lutiba, nʼaguwa omuwala nʼomuwala nʼagutwalira nnyina.
29Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika.
30Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
31Nʼabagamba nti,
32Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.
33Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo.
34Yesu bwe yava mu lyato nʼalaba ekibiina byʼabantu bangi abaali bakuŋŋaanye nʼabasaasira nga bali ngʼendiga ezitaliiko musumba. Awo nʼatandika okubayigiriza ebintu bingi.
35Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate nʼobudde buwungedde.
36Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.”
37Naye Yesu nʼabaddamu nti,
38Yesu nʼababuuza nti,
39Awo Yesu nʼalagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja.
40Awo ne batuula mu bibinja, ebyʼabantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi.
41Yesu nʼatoola emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri nʼayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. Nʼamenyaamenya emigaati nʼebyennyanja ebibiri, nʼabiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna.
42Bonna ne balya ne bakkuta.
43Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bwʼemigaati nʼobwʼebyennyanja ebibbo kkumi na bibiri.
44Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.
45Amangwago Yesu nʼalagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala wʼennyanja e Besusayida abasange eyo, ngʼamaze okusiibula ebibiina byʼabantu.
46Bwe yamala okubasiibula nʼalinnya ku lusozi okusaba.
47Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ngʼasigadde yekka ku lukalu,
48nʼabalengera nga bategana nʼeryato kubanga waaliwo omuyaga mungi nʼamayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ezʼekiro, nʼajja gye bali ngʼatambulira ku mazzi, nʼaba ngʼayagala okubayitako.
49Naye bwe baamulaba ngʼatambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu,
50kubanga bonna baamulaba ne batya.
51Awo nʼalinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo.
52Tebategeera kyamagero ekyʼemigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
53Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lwʼennyanja Genesaleeti,
54ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo.
55Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda.
56Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lwʼekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.