1Awo abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu.
2Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo.
3Kubanga Abafalisaayo nʼAbayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo nʼobwegendereza ngʼempisa zaabwe bwe zaali.
4Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo nʼobulombolombo obulala bwe baagobereranga ngʼokulongoosa ensuwa zaabwe, nʼebikopo, nʼebbinika nʼessowaani, nʼebirala bingi.
5Awo Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ezʼedda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
6Yesu nʼabaddamu nti,
7
8
9Nʼabagamba nate nti,
10
11
12
13
14Awo Yesu nʼayita ekibiina kyʼabantu nʼabagamba nti,
15
16
17Yesu nʼaviira ekibiina nʼayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu gʼebigambo bye yayogera.
18Nʼabaddamu nti,
19
20Era nʼayongerako na bino nti,
21
22
23
24Awo Yesu nʼalaga mu bitundu byʼe Ttuulo, nʼatayagala kitegeerekeke nti Ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka.
25Omukazi eyalina muwala we ngʼaliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, nʼajja eri Yesu, nʼagwa ku bigere bye.
26Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, nʼamwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.
27Yesu nʼagamba omukazi nti,
28Naye omukazi nʼamuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era nʼembwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani zʼabaana.”
29Yesu nʼamugamba nti,
30Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
31Yesu bwe yava mu Ttuulo nʼagenda e Sidoni, eyo gye yava nʼaddayo ku nnyanja eyʼe Ggaliraaya ngʼayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli).
32Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu wʼamatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.
33Yesu nʼaggya omusajja mu bantu nʼamulaza wabbali, nʼassa engalo ze mu matu gʼomusajja; nʼawanda amalusu, nʼagasiiga nʼolunwe lwe ku lulimi lwʼomusajja.
34Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼassa ekikkowe, nʼalyoka alagira omusajja nti,
35Amangwago amatu gʼomusajja ne gagguka nʼawulira buli kintu era nʼayogera bulungi!
36Yesu nʼakuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza.
37Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli kyʼakola kya kyewuunyo, aggula nʼamatu ga bakiggala nʼayogeza ne bakasiru!”