Makko 8:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere nʼebaggwaako. Yesu nʼayita abayigirizwa be nʼabagamba nti,

2“Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya.

3Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala.”

4Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Emmere tunaagiggya wa wano mu ddungu eneemala abantu bano bonna?”

5Yesu nʼababuuza nti, “Mulina wo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”

6Awo Yesu nʼalagira abantu batuule wansi. Nʼaddira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, nʼagimenyaamenyamu, nʼagiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula.

7Era baalina wo nʼebyennyanja bitono, nabyo Yesu nʼabiwa omukisa nʼagamba abayigirizwa be babigabule abantu.

8Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde.

9Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ngʼenkumi nnya. Nʼabasiibula.

10Amangwago nʼasaabala mu lyato nʼabayigirizwa be nʼajja mu kitundu ekyʼe Dalumanusa.

11Abafalisaayo ne bajja gyʼali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.

12Yesu nʼassa ekikkowe, nʼabagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.”

13Nʼabaviira nʼasaabala mu lyato nʼalaga ku ludda olulala olwʼennyanja.

14Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato.

15Yesu nʼabakuutira nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ekyʼAbafalisaayo nʼekizimbulukusa ekya Kerode.”

16Ne bawakana bokka ne bokka nti tebalina migaati.

17Yesu bwe yakimanya nʼabagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?

18Lwaki temulaba, ate nga mulina amaaso? Lwaki temuwulira ate nga mulina amatu? Temujjukira?

19Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka ebyʼobukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?”

19Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”

20Nʼababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya nʼemigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero byʼobutundutundu bwe baalemwa bimeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”

21Nʼabagamba nti, “Era temunnategeera?”

22Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe wʼamaaso, ne bamwegayirira amukwateko.

23Yesu nʼakwata omuzibe wʼamaaso ku mukono nʼamufulumya ebweru wʼakabuga ako. Nʼawanda amalusu ku maaso gʼomusajja nʼagakwatako, nʼamubuuza nti, “Kaakano waliwo kyʼolaba?”

24Omusajja nʼamagamaga, nʼaddamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ngʼemiti egitambula.”

25Yesu nʼayongera okukwata ku maaso gʼomusajja, omusajja nʼazibuka amaaso nʼawonera ddala buli kintu nʼakiraba bulungi.

26Yesu nʼamutuma mu maka gʼewaabwe ngʼamugamba nti, “Toddayo mu kyalo.”

27Awo Yesu nʼabayigirizwa be, ne bagenda mu bubuga obwʼe Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, Yesu nʼababuuza nti, “Abantu bampita ani?”

28Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala Eriya, naye abalala nti omu ku bannabbi.”

29Kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero nʼaddamu nti, “Ggwe Kristo.”

30Naye Yesu nʼabakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna!

31Awo Yesu nʼatandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana wʼOmuntu okubonaabona ennyo, nʼokugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼokuttibwa, nʼoluvannyuma lwʼennaku ssatu okuzuukira.”

32Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali nʼamunenya.

33Yesu nʼakyuka nʼatunuulira abayigirizwa be, nʼalyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku byʼabantu.”

34Awo Yesu nʼayita ekibiina wamu nʼabayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere.

35Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lwʼEnjiri alibuwonya.

36Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe?

37Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olwʼobulamu bwe?

38Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>