Malaki 1:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.

2 “Nabaagala,” bwʼayogera Mukama. “Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ ” “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bwʼayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala.

3Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye eyʼensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe ebyʼomu ddungu.”

4“Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, ‘Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.’ ” “Mukama owʼEggye ayogera nti, ‘Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna.’

5Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’ ”

6“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, nʼomuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Mukama owʼEggye bwʼabagamba mmwe nti, ‘Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange.’ Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ ”

7“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese.” “Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ ” “Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa.

8 Bwe muwaayo ensolo enzibe zʼamaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

9“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo nʼomu gwʼayinza okukkiriza?” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

10“Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogwʼobwereere! Sibasanyukira nʼakatono,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe.

11Kubanga okuva enjuba gyʼeva okutuusa gyʼegwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko nʼekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

12“Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana nʼebiweebwayo ku kyoto kyange.

13Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

13“Bwe muleeta ekinyage, nʼekiwenyera, nʼekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

14“Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye nʼawaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “nʼerinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.