1“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.
2Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe nʼengeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.
3“Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige nʼobusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange.
4
5
6Amateeka agʼamazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era nʼaggya bangi mu kibi.
7“Kubanga emimwa gyʼabasumba gisaana okukuuma ebyʼamagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama owʼEggye.
8Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olwʼebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
9“Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso gʼabantu bonna olwʼobutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”
10Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?
11Yuda takuumye bwesigwa nʼebyʼomuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, kyʼayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale.
12Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ngʼaleeta ebiweebwayo eri Mukama owʼEggye!
13Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako.
14Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo owʼomu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ngʼolimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.
15Mukama Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we owʼomu buvubuka bwe.
16“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “nʼomusajja ajooga mukazi we,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
17Mukama mumukooyezza nʼebigambo byammwe.