Malaki 3:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1 “Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka wʼendagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

2 “Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olwʼokujja kwe, era ani aliyimirira ye bwʼalirabika? Kubanga ali ngʼomuliro gwʼoyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni owʼabayoza.

3Era alituula nʼatunula ngʼoyo alongoosa ffeeza nʼagimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ngʼezaabu nʼeffeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu.

4Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ezʼedda era nga mu myaka egyayita.

5“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira ebyʼobulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

6“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza.”

7“Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. “Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bwʼayogera Mukama owʼEggye. “Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’

8Omuntu alinyaga Katonda?” “Mu biweebwayo ne mu kimu ekyʼekkumi.

8“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ ”

9Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze.

10Muleete ekimu ekyʼekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “obanga siribaggulirawo ebituli ebyʼomu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.

11Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so nʼomuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

12“Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino kyʼekisuubizo,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

13“Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bwʼayogera Mukama. “Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’ ”

14“Mwayogera nti, ‘Ebyʼokuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era nʼokutambulira mu maaso ga Mukama owʼEggye ngʼabakungubaga?

15Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi bʼebibi bakulaakulana era nʼabo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”

16Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama nʼabawulira. Ekitabo ekyʼokujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ngʼalaba.

17“Kale baliba bange,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange ekyʼomuwendo; era ndibasonyiwa ngʼomuzadde bwʼasonyiwa mutabani we amuweereza.

18Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu nʼomubi, oyo aweereza Katonda nʼoyo atamuweereza.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.