1“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ngʼekikoomi, nʼabʼamalala bonna nʼabo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.
2Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba eyʼobutuukirivu eribaviirayo ngʼerina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ngʼennyana ezʼomu kiraalo.
3Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi wʼebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
4“Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro nʼamateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.
5
6era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, nʼomutima gwʼabaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”