Matayo 1:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Luno lwe Lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu.

2Ibulayimu yazaala Isaaka, Isaaka nʼazaala Yakobo, Yakobo nʼazaala Yuda ne baganda be.

3Yuda nʼazaala Perezi ne Zeera mu Tamali, Perezi nʼazaala Kezirooni, Kezirooni nʼazaala Laamu.

4Laamu yazaala Aminadaabu, Aminadaabu nʼazaala Nasoni, Nasoni nʼazaala Salumooni.

5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu, Bowaazi nʼazaala Obedi mu Luusi. Obedi nʼazaala Yese.

6Yese yazaala Kabaka Dawudi, Dawudi nʼazaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.

7Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu nʼazaala Abiya, Abiya nʼazaala Asa.

8Asa nʼazaala Yekosafaati, Yekosafaati nʼazaala Yolaamu, Yolaamu nʼazaala Uzziya.

9Uzziya nʼazaala Yosamu, Yosamu nʼazaala Akazi, Akazi nʼazaala Keezeekiya.

10Keezeekiya nʼazaala Manaase, Manaase nʼazaala Amosi, Amosi nʼazaala Yosiya.

11Yosiya nʼazaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera ekyʼokutwalibwa e Babulooni.

12Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya nʼazaala Seyalutyeri, Seyalutyeri nʼazaala Zerubbaberi.

13Zerubbaberi nʼazaala Abiwuudi, Abiwuudi nʼazaala Eriyakimu, Eriyakimu nʼazaala Azoli.

14Azoli nʼazaala Zadooki, Zadooki nʼazaala Akimu, Akimu nʼazaala Eriwuudi.

15Eriwuudi nʼazaala Eriyazaali, Eriyazaali nʼazaala Mataani, Mataani nʼazaala Yakobo.

16Yakobo nʼazaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi nʼena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi nʼena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi nʼena.

18Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ngʼakyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa nʼalabika ngʼali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.

19Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi nʼasalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ngʼayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.

20Naye bwe yali ngʼagalamidde ku kitanda kye ngʼakyabirowoozaako, nʼafuna ekirooto; nʼalaba malayika wa Mukama ngʼayimiridde wʼali, nʼamugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lwʼalina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

21Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

22Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ngʼayita mu nnabbi we ngʼagamba nti,

23 “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa ‘Emmanweri,’ amakulu gaalyo nti, ‘Katonda ali naffe.’ ”

24Yusufu bwe yazuukuka, nʼakola nga Malayika bwe yamulagira, nʼatwala Maliyamu okuba mukazi we.

25Naye Yusufu nʼatamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu nʼamutuuma erinnya YESU.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.