Matayo 10:1-42 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.

2Amannya gʼabayigirizwa ekkumi nʼababiri ge gano: Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero; ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;

3Firipo; ne Battolomaayo; ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza wʼomusolo; ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;

4ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.

5Abo ekkumi nʼababiri Yesu nʼabatuma ngʼabalagira nti, “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga kyʼAbasamaliya.

6Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula.

7Mugende mubabuulire nti Obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.

8Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

9Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe,

10wadde ensawo eyʼoku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gwʼengatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa ebyʼokumuyamba.

11“Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka gʼomuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo.

12Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe.

13Amaka ago bwe gabanga agʼabantu abasaanidde, emirembe gyammwe gibe ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe gibaddirenga.

14Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu,[8] eyʼoku bigere byammwe.

15Ddala ddala mbagamba nti Ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olwo ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

16Laba mbatuma ngʼendiga mu misege emingi. Noolwekyo mubeere bagezigezi ngʼemisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ngʼamayiba.

17“Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko zʼAbakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo.

18Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo nʼabannaggwanga.

19Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo.

20Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe yʼalyogerera mu mmwe!

21“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era nʼabazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta.

22Mulikyayibwa abantu bonna olwʼerinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa.

23Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana wʼOmuntu nʼajja.

24“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so nʼomuddu tasinga mukama we.

25Kirungi omuyigirizwa okuba ngʼomusomesa we, nʼomuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku bʼomu nju ye.

26“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitali kwekulwa.

27Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba.

28Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo nʼomubiri mu ggeyeena.

29Enkazaluggya ebbiri tezituundibwa sente emu? Naye tewali nʼemu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi.

30Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa.

31Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

32“Buli muntu alinjatulira mu maaso gʼabantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

33Na buli muntu alinneegaanira mu maaso gʼabantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

34“Temulowooza nti Najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.

35Kubanga najja okwawukanya

35omwana owoobulenzi ne kitaawe, nʼomwana owoobuwala ne nnyina nʼokwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.

36Abalabe bʼomuntu banaabanga ba mu nju ye.

37“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, nʼoyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira.

38Nʼoyo ateetikkenga musaalaba gwe nʼangoberera tansaanira.

39Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.

40“Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma.

41Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera yʼemu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya lyʼomuntu omutuukirivu, alifuna empeera yʼemu ngʼeyʼomutuukirivu.

42Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi yʼamazzi agannyogoga olwʼerinnya lyʼomuyigiriza talibulwa mpeera ye nʼakatono.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>