Matayo 11:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼavaayo nʼagenda okubuulira nʼokuyigiriza mu bibuga byabwe.

2Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, nʼamutumira abayigirizwa be.

3Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulinda, nantiki tulindirireyo omulala?”

4Yesu nʼabaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira.

5Abazibe bʼamaaso balaba, nʼabalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, nʼabafu bazuukizibwa nʼabaavu babuulirwa Enjiri.

6Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Balina omukisa abo abatambuusabuusa.’ ”

7Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu nʼategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa nʼempewo?

8Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka.

9Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi.

10 Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti,

10‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere, alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’

11Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obwʼomu ggulu asinga Yokaana.

12Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza nʼokutuusa kaakano, obwakabaka obwʼomu ggulu buyingirwa nʼamaanyi, era abantu abʼamaanyi ennyo be babutwala.

13Kubanga amateeka gonna era nʼobunnabbi byonna byayogera okutuukira ddala ku Yokaana.

14Era obanga mwagala okukkiriza, ye Eriya anaatera okujja.

15Alina amatu agawulira, awulire.”

16“Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ngʼabaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,

17‘Twabafuuyira omulere, ne mutazina; ne tuyimba oluyimba olwʼokukungubaga, ne mutakungubaga.’

18Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’

19Omwana wʼOmuntu, bwe yajja ngʼalya era ngʼanywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gwʼabasolooza bʼomusolo nʼaboonoonyi. Bʼabeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”

20Yesu nʼanenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya.

21“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu nʼevvu ku mitwe gyabwe.

22Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olwʼokusalirako omusango!

23Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye olitoowazibwa okutuuka wansi ggeyeena gyʼeri. Kubanga ebyamagero ebyʼekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero.

24Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olwʼokusalirako omusango!”

25Yesu nʼasaba bwʼati nti, “Ayi Kitange, Mukama wʼeggulu nʼensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino ebyʼamazima wabikisa abo abeeyita abʼamagezi ennyo, naye nʼobibikkulira abaana abato.

26Weewaawo Kitange, bwʼotyo bwe wasiima.”

27“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka yʼamanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, nʼabo be mba njagadde okulaga Kitange nabo bamumanyi.”

28“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.

29Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, nʼemyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo.

30Kubanga ekikoligo kyange kyangu, nʼomugugu gwange teguzitowa.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>