Matayo 12:1-50 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu kiseera ekyo Yesu nʼayita mu nnimiro yʼemmere eyʼempeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba byʼeŋŋaano ne babirya.

2Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”

3Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo?

4Yayingira mu nnyumba ya Katonda nʼalya emigaati egyʼokulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya.

5Oba temusomanga mu mateeka nti Bakabona ababeera mu luwalo lwʼokuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango?

6Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano.

7 Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango.

8Kubanga Omwana wʼOmuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

9Nʼavaayo nʼajja mu kuŋŋaaniro lyabwe.

10Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.[9] Baali basuubira nti Anaddamu nti Kituufu, balyoke bamuwawaabire.

11Naye nʼabaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ngʼalina endiga emu, nʼegwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu?

12Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”

13Bwʼatyo nʼagamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Nʼagugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!

14Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.

15Naye Yesu bwe yakimanya nʼafuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nʼawonya abaali abalwadde bonna,

16kyokka nʼabakomako baleme okumwatuukiriza.

17Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:

18“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera, gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange. Ndimuteekako Omwoyo wange era Alisalira amawanga gonna emisango.

19Taliyomba so talireekaana, era tewaliba nʼomu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.

20Talimenya lumuli lunafu, wadde okuzikiriza olutambi lwʼettaala olunyooka.

21 Era abamawanga baliba nʼessuubi mu linnya lye.”

22Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe wʼamaaso era nga tayogera. Nʼamuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera nʼasobola okwogera nʼokulaba.

23Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

24Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”

25Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira.

26Ne Setaani bwʼagoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya?

27Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bwʼani? Noolwekyo be bali basalira omusango.

28Naye bwe mba ngoba baddayimooni nʼamaanyi gʼOmwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

29“Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba yʼomuntu owʼamaanyi, nʼamunyagako ebintu bye okuggyako ngʼasooka okusiba owʼamaanyi oyo? Olwo nʼalyoka anyaga ebintu bye.

30“Oyo atali nange, mulabe wange. Nʼoyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.

31Noolwekyo mbategeereza ddala nti Omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa.

32Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana wʼOmuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.

33“Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bwʼogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bwʼogulagajjalira tegubala bibala.

34Mmwe abaana bʼembalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ebyo ebijjudde mu mutima.

35Omusajja omulungi ayogera ebirungi ebiva mu tterekero lye eddungi, era nʼomuntu omubi ayogera ebibi ebiva mu tterekero lye ebbi.

36Era mbategeeza nti Buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olwʼokusalirako emisango.

37Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

38Awo abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka nʼAbafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”

39Naye nʼabaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona.

40Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lwʼekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana nʼekiro, nʼOmwana wʼOmuntu bwʼatyo bwʼalimala mu ttaka ennaku ssatu emisana nʼekiro.

41Abantu bʼe Nineeve bwe baliyimirira mu musango bagenda kusinzisa abantu bʼomulembe guno omusango, kubanga Yona bwe yababuulira bo ne beenenya. Naye laba asinga Yona ali wano.

42Kabaka omukazi owʼObukiikaddyo aliyimirira nʼabantu bʼomulembe guno mu musango era alibasinzisa omusango, kubanga yava ewala ensi gyʼekoma nʼajja okuwulira amagezi ga Kabaka Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.

43“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya awʼokuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira.

44Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke.

45Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo nʼabeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba nʼomulembe guno omwonoonefu.”

46Yesu bwe yali akyayogera nʼekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.

47Omuntu omu nʼamutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.”

48Yesu nʼamuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?”

49Nʼagolola omukono gwe eri abayigirizwa be nʼagamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange!

50Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>