1 Ku lunaku olwo Yesu nʼafuluma mu nnyumba nʼagenda nʼatuula ku lubalama lwʼennyanja.
2 Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato nʼatuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama.
3 Nʼababuulira ebintu bingi mu ngero ngʼagamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye.
4 Bwe yagenda ngʼamansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali gʼekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5 Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu.
6 Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi.
7 Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala.
8 Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, nʼendala emirundi nkaaga nʼendala emirundi kikumi.
9 Alina amatu agawulira, awulire.”
10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11 Nʼabaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama ebyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, naye bo tebaakiweebwa.
12 Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako nʼako akatono kʼalina.
13 Kyenva njigiriza mu ngero, abalaba baleme okulaba, nʼabawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.
14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti, ‘Muliwulira naye temulitegeera nʼokulaba muliraba naye temulimanya.
15 ⓤ Kubanga omutima gwʼabantu bano gwesibye, nʼamatu gaabwe tegawulira bulungi. Nʼamaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba nʼamaaso wadde okuwulira nʼamatu, wadde omutima gwabwe okutegeera, ne bakyuka ne mbawonya.’
16 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, nʼamatu gammwe kubanga gawulira.
17 Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, nʼabatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, nʼokuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.
18 “Noolwekyo muwulirize olugero Lwʼomulimi eyasiga ensigo.
19 Ensigo eyagwa ku mabbali gʼekkubo efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo kya Katonda nʼatakitegeera era omulabe Setaani nʼajja nʼakimusikulako okuva ku mutima.
20 Ensigo eyagwa ku lwaziyazi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo amangwago nʼakyaniriza nʼessanyu,
21 naye olwʼokuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku nʼokuyigganyizibwa bwe bijja olwʼekigambo, amangwago nʼagwa.
22 Nʼensigo eyagwa mu maggwa efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kwʼebintu byʼensi nʼobugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala.
23 Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo nʼakitegeera, nʼabalira ddala ebibala, nʼabala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”
24 Nʼabagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nʼomuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye,
25 naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda.
26 Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, nʼomuddo ne gumerera wamu nayo.
27 “Naye abaddu bʼomwami wʼennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’
28 “Ye nʼabaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’
29 “Nʼabaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu nʼeŋŋaano.
30 Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko nʼoluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu mawanika gange.’ ”
31 Nʼabagerera olugero olulala ngʼagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro.
32 Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, nʼennyonyi ezʼomu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”
33 Nʼabongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa nʼekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bwʼeŋŋaano, nʼapima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”
34 Bino byonna Yesu yabyogerera mu ngero eri ebibiina era teyayogera gye bali awatali ngero.
35 ⓥ Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti,
35 “Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kwʼensi.”
36 Awo bwe yamala okusiibula ekibiina nʼayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu gʼolugero lwʼomuddo ogwali mu nnimiro.
37 Nʼabannyonnyola ngʼagamba nti, “Omwana wʼOmuntu ye yasiga ensigo ennungi.
38 Ennimiro yʼensi, nʼensigo ennungi be baana bʼobwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani.
39 Omulabe eyasiga ensigo ezʼomuddo ye Setaani, amakungula yʼenkomerero yʼensi nʼabakunguzi be bamalayika.
40 “Noolwekyo ngʼomuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero yʼensi.
41 Omwana wʼOmuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, nʼabajeemu,
42 babasuule mu nkoomi yʼomuliro. Omwo mwe muliba okukaaba nʼokuluma obujiji.
43 Naye abatuukirivu balyakaayakana ngʼenjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
44 “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nʼekyobugagga ekyakwekebwa[10] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olwʼessanyu lye yafuna nʼagenda nʼatunda bye yalina byonna, nʼagula ennimiro eyo.
45 “Ate era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼomusuubuzi wʼamayinja agʼomuwendo omungi eyali anoonya amayinja agʼomuwendo,
46 bwe yazuula ejjinja erimu eryʼomuwendo nʼagenda nʼatunda bye yalina byonna nʼaligula.
47 “Era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri,
48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula.
49 Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi.
50 Ababi balibasuula mu nkoomi yʼomuliro eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”
51 Yesu nʼababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”
52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka gʼEkiyudaaya ate nʼafuuka omuyigiriza wʼobwakabaka obwʼomu ggulu, ali ngʼomusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya nʼebikadde.”
53 Awo Yesu bwe yamala okugera engero ezo nʼavaayo,
54 nʼaddayo mu kibuga kyʼewaabwe nʼayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. Nʼabeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi nʼebyamagero ebyo?”
55 Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wʼomubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda.
56 Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?”
57 Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu nʼabagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu kyʼewaabwe ne mu nnyumba yʼewaabwe.”
58 Era yakolerayo ebyamagero bitono olwʼobutakkiriza bwabwe.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.