1Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu
2nʼagamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era yʼakola ebyʼamagero.”
3Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana nʼamussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we,
4kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo nʼomufuula owuwo.”
5Kerode yali ayagala kumutta naye nʼatya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.
6Olunaku lwʼamazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya nʼazina nnyo ku mbaga nʼasanyusa nnyo Kerode.
7Awo Kerode nʼasuubiza omuwala ngʼalayira okumuwa kyonna kyʼanaamusaba.
8Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, nʼagamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”
9Kabaka ekintu ekyo ne kimunakuwaza nnyo. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso gʼabagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere.
10Ne bagenda mu kkomera ne batemako Yokaana omutwe
11ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye nʼagutwalira nnyina.
12Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.
13Yesu bwe yabiwulira ebyo, nʼasaabala mu lyato, nʼabaako gyʼalaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu.
14Yesu bwe yava eyo nʼalaba, abantu bangi nʼabasaasira nʼawonya abalwadde baabwe.
15Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”
16Naye Yesu nʼabaddamu nti,
17Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka nʼebyennyanja bibiri.”
18Nʼabagamba nti,
19Nʼalagira ekibiina kituule wansi ku muddo, nʼaddira emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri, nʼatunula waggulu ne yeebaza, emigaati nʼagimenyaamenyamu nʼagiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina.
20Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri!
21Abantu bonna abaalya baali ngʼenkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.
22Amangwago Yesu nʼalagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala wʼennyanja, ye asigale ngʼakyasiibula abantu.
23Bwe yamala okusiibula ekibiina nʼayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ngʼali eyo yekka.
24Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka e buziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.
25Awo ku ssaawa nga mwenda ezʼekiro, Yesu nʼajja gye bali ngʼatambula ku nnyanja.
26Naye abayigirizwa bwe baamulaba ngʼatambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.
27Awo amangwago Yesu nʼabagamba nti,
28Peetero nʼamugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gyʼoli nga ntambulira ku mazzi.”
29Yesu nʼamuddamu nti,
30Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogwʼamaanyi, nʼatya nʼatandika okusaanawo, nʼakoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”
31Amangwago Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwata, nʼamugamba nti,
32Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo.
33Nʼabo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”
34Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti.
35Abantu bʼomu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera.
36Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lwʼekyambalo kye, era buli eyakomako nʼawonyezebwa.