1Awo Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti:
2“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bwʼAbakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3Naye Yesu naye nʼababuuza nti,
4
5
6
7
8
9
10Yesu nʼayita ekibiina nʼabagamba nti,
11Omuntu kyʼalya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
12Abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”
13Naye Yesu nʼaddamu nti,
14
15Peetero nʼamugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”
16Yesu nʼabagamba nti,
17
18
19
20
21Yesu nʼava mu kifo ekyo, nʼagenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni.
22Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, nʼajja eri Yesu nʼamwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”
23Naye Yesu nʼasirika nʼatamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bwʼomugoba nʼagenda. Ngʼayitirizza okutukaabirira.”
24Naye Yesu nʼaddamu omukazi nti,
25Naye omukazi nʼasembera awali Yesu nʼamusinza, nʼamwegayirira ngʼagamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”
26Yesu nʼamuddamu nti,
27Omukazi nʼaddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye nʼembwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”
28Awo Yesu nʼamugamba nti,
29Yesu nʼavaayo nʼajja emitala okumpi nʼennyanja yʼe Ggaliraaya nʼalinnya ku lusozi nʼatuula eyo.
30Abantu bangi ne bajja gyʼali, ne bamuleetera, abakoozimbye, nʼabatayogera nʼabalala bangi ne babassa we yali nʼabawonya.
31Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, nʼababadde bakoozimbye nga bawonye, nʼababadde abalema nga batambula, nʼababadde abazibe bʼamaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.
32Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be nʼabagamba nti,
33Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”
34Yesu nʼababuuza nti,
35Yesu nʼalagira abantu bonna batuule wansi,
36nʼaddira emigaati omusanvu nʼebyennyanja, bwe yamala okwebaza, nʼabimenyaamenyamu, nʼawa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina.
37Buli muntu nʼalya nʼakkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu.
38Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.
39Awo Yesu nʼasiibula ekibiina, nʼasaabala mu lyato nʼagenda mu nsalo yʼe Magadani.