1Awo Abafalisaayo nʼAbasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.
2Naye Yesu nʼabaddamu nti,
3
4
5Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala wʼeri ne beerabira okuleeta emigaati.
6Naye Yesu nʼabagamba nti,
7Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bwʼatyo kubanga tetwaleese migaati.”
8Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe nʼabagamba nti,
9
10
11
12Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza yʼAbafalisaayo nʼAbasaddukaayo.
13Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo nʼabuuza abayigirizwa be nti,
14Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, nʼabalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.”
15Awo Yesu nʼababuuza nti,
16Simooni Peetero nʼaddamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”
17Yesu nʼamugamba nti,
18
19
20Awo nʼakuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu nʼomu nti Ye Kristo.
21Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze bʼAbayudaaya ne bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22Peetero nʼamuzza ebbali nʼatandika okumunenya ngʼamugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”
23Naye Yesu nʼakyukira Peetero nʼamugamba nti,
24Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti,
25Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya.
26Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe?
27Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.
28Ddala ddala mbagamba nti Ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja nʼobwakabaka bwe.”