1Oluvannyuma lwʼennaku mukaaga Yesu nʼatwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, nʼabalinnyisa ku lusozi oluwanvu.
2Nʼafuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ngʼenjuba nʼebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.
3Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.
4Peetero nʼagamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bwʼoba ngʼosiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa nʼendala ya Eriya.”
5Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”
6Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo.
7Yesu nʼajja gye bali nʼabakwatako nʼabagamba nti, “Mugolokoke temutya.”
8Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!
9Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu nʼabakuutira nti,
10Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi bʼamateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”
11Yesu nʼabaddamu nti,
12
13Awo abayigirizwa be ne bategeera nti Yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.
14Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja nʼajja gyʼali nʼafukamira we yali, nʼamugamba nti,
15“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi.
16Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”
17Yesu nʼaddamu nti,
18Yesu nʼaboggolera dayimooni, nʼava ku mulenzi, omulenzi nʼawona mu kiseera ekyo.
19Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Ffe lwaki tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”
20Yesu nʼabaddamu nti,
21
22Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu nʼabagamba nti,
23
24Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza bʼomusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”
25Peetero nʼabaddamu nti, “Awa!” Peetero nʼayingira mu nnyumba. Naye Yesu nʼamwesooka nʼamubuuza nti,
26Peetero nʼaddamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.”
27