Matayo 18:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gyʼali ne nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obwʼomu ggulu?”

2Yesu nʼayita omwana omuto nʼamussa mu makkati gaabwe.

3Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

4Noolwekyo buli eyeetoowaza ngʼomwana ono omuto yʼaliba asinga obukulu mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

5“Na buli asembeza omwana omuto ngʼono mu linnya lyange ngʼasembeza Nze.

6Naye alyesitazza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

7“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta.

8Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ngʼogongobadde oba ngʼolemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ngʼolina emikono ebiri nʼebigere bibiri.

9Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ngʼolina eriiso limu okusinga okugenda mu muliro gwa ggeyeena ngʼolina amaaso go gombi.”

10“Mwekuume obutanyoomanga nʼomu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti Bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

11Kubanga Omwana wʼOmuntu yajja okulokola ekyabula[12].

12“Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bwʼaba nʼendiga ze ekikumi, emu nʼemubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi nʼagenda anoonya eri emu ebuze?

13Ddala ddala mbagamba nti, bwʼagiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.

14Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ngʼomu ku bato bano ngʼazikirira.”

15“Muganda wo bwʼakusobyanga ogendanga gyʼali nʼomutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bwʼakkirizanga nʼakwetondera olwo ngʼoggyeemu omuntu mu muganda wo.

16 Naye bwʼagaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bwʼabantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo.

17Naye bwʼagaananga okubawuliriza ngʼensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza wʼomusolo.

18“Ddala ddala mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.

19“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera.

20Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

21Awo Peetero nʼajja nʼabuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bwʼansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”

22Yesu nʼamuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

23Awo Yesu nʼagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye ebyʼensimbi, nʼabaddu be.

24Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gwʼabanja ettalanta[13] omutwalo gumu.

25Naye olwʼokuba ngʼomusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we nʼabaana be nʼebintu bye byonna ebbanja liggwe.

26“Naye omuddu oyo nʼagwa wansi mu maaso ga mukama we, nʼamwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’

27“Mukama we nʼasaasira omuddu oyo nʼamusonyiwa ebbanja lyonna!

28“Omuddu oyo bwe yafuluma nʼasanga munne gwe yali abanja eddinaali[14] kikumi, nʼamugwa mu bulago nga bwʼamugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’

29“Naye munne nʼagwa wansi, nʼamwegayirira ngʼagamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula’.

30“Naye amubanja nʼagaana okumuwuliriza, nʼamuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lwʼalisasula ebbanja lyonna.

31Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.

32“Awo mukama we nʼatumya omuddu gwe yali asonyiye nʼamugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde,

33naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’

34Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, nʼamukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lwʼalisasula ebbanja lyonna.

35“Kale ne Kitange ali mu ggulu bwʼatyo bwʼalibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>