Matayo 19:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo nʼava e Ggaliraaya nʼajja mu bitundu bya Buyudaaya okuyita emitala wʼomugga Yoludaani.

2Ekibiina kinene ne bamugoberera era nʼawonya abalwadde baabwe.

3Abafalisaayo ne bajja gyʼali bamugezese nga bagamba nti “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olwʼensonga nʼemu?”

4 Yesu nʼabaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja nʼomukazi,’

5 era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu,

6nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yamala okugatta awamu omuntu taabaawukanyenga.”

7Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti Omusajja bwʼabanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa eyʼokumugoba?”

8Yesu nʼabaddamu nti, “Olwʼobukakanyavu bwʼemitima gyammwe Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo.

9Era mbagamba nti Omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olwʼobwenzi, nʼamala awasa omulala, anaabanga ayenze, nʼoyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”

10Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”

11Yesu nʼabaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda bʼakiwa.

12Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogwʼobwakabaka obwʼomu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”

13Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe nʼomukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.

14Naye Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ngʼabo be bannannyini bwakabaka obwʼomu ggulu.”

15Nʼabassaako emikono nʼabawa omukisa nʼalyoka avaayo.

16Awo omuntu omu nʼamusemberera nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”

17Yesu nʼamuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bwʼobanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”

18Nʼamuddamu nti, “Ge galuwa?” Yesu nʼamugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga,

19 ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’[15]

20Omuvubuka oyo nʼamuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”

21Yesu nʼamugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo nʼagenda ngʼanakuwadde kubanga yali mugagga.

23Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

24Era mbategeeza nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”

25Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, nʼokugamba ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokoka?”

26Yesu nʼabatunuulira, nʼabaddamu nti, “Mu buntu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”

27Awo Peetero nʼabuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?”

28Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana wʼOmuntu bwʼalituula ku ntebe ye eyʼekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi nʼebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri.

29Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olwʼerinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.

30Bangi aboolubereberye, abaliba abooluvannyuma, nʼabʼoluvannyuma ne baba aboolubereberye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>