Matayo 2:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu ekyʼomu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti,

2“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka wʼAbayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

3Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi.

4Nʼayita bakabona abakulu bonna nʼabawandiisi bʼamateeka nʼabeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa.

5Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu ekyʼomu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

6 ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda, toli mutono mu balangira ba Yuda, kubanga omufuzi aliva mu ggwe, alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

7Awo Kerode nʼatumya Abagezigezi kyama, nʼababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu.

8Nʼabasindika e Besirekemu ngʼagamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”

9Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba nʼeddamu okubalabikira nʼokubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana wʼali.

10Bwe baalaba emmunyeenye ngʼeyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo!

11Bwe baayingira mu nnyumba[1] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, nʼobubaane nʼomugavu.

12Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

13Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama nʼalabikira Yusufu mu kirooto nʼamugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ngʼayagala okumutta.”

14Ekiro ekyo nʼasituka nʼatwala Omwana ne nnyina e Misiri.

15 Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:

15“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”

16Kerode bwe yalaba ngʼAbagezigezi banyoomye ekiragiro kye, nʼasunguwala nnyo, nʼatuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi abʼemyaka ebiri nʼabatannagiweza, ngʼasinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye.

17Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ngʼagamba nti,

18 “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, okukuba emiranga nʼokukungubaga okunene, nga Laakeeri akaabira abaana be, nga tewakyali asobola kumuwooyawooya, kubanga bonna baweddewo.”

19Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama nʼalabikira Yusufu mu kirooto e Misiri,

20nʼamugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”

21Yusufu nʼasitukiramu nʼazzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri.

22Naye bwe yatuuka mu kkubo nʼatya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[2] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama nʼamulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bwʼatyo nʼalaga e Ggaliraaya

23nʼatuuka mu kibuga kyʼe Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.