1Awo Yesu nʼabagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼomuntu ssemaka, eyakeera mu makya nʼapangisa abakozi okukola mu nnimiro ye eyʼemizabbibu.
2Nʼalagaana nʼabapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ezʼolunaku olumu. Nʼabasindika mu nnimiro ye eyʼemizabbibu.
3“Bwe waayitawo essaawa nga bbiri nʼasanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola,
4nabo nʼabagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro yʼemizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’
5Ne bagenda. Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda nʼasindikayo abalala mu ngeri yʼemu.
6“Essaawa nga ziweze nga kkumi nʼemu nʼasanga abalala nga bayimiridde awo, nʼababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
8“Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro nʼalagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ngʼasookera ku bʼoluvannyuma.
9“Abaatandika ku ssaawa ekkumi nʼemu ne baweebwa eddinaali emu emu.
10Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti Bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogwʼolunaku olumu nga bali.
11Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro
12nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gwʼomu tuntu?’
13“Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu?
14Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala nʼono asembyeyo okumuwa empeera yʼemu nga gye nkuwadde.
15Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’
16“Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, nʼaboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”
17Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi nʼatwala abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, nʼabagamba nti,
18“Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana wʼOmuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, bamusalire omusango ogwʼokufa.
19Era balimuwaayo mu baamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
20Awo nnyina wʼabaana ba Zebbedaayo, nʼajja eri Yesu ne batabani be bombi, nʼamusinza ngʼayagala okubaako kyʼamusaba.
21Yesu nʼamubuuza nti, “Kiki kyʼoyagala?” Nʼaddamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo nʼomulala ku gwa kkono.”
22Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Tomanyi kyʼosaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”
29Awo Yesu nʼabayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera.
30Abazibe bʼamaaso babiri abaali batudde ku mabbali gʼekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusaasire!”
31Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”