Matayo 21:1-46 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼabayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi nʼekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu nʼatuma babiri ku bayigirizwa be.

2Nʼabagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ngʼesibiddwa awo wamu nʼomwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano.

3Naye omuntu yenna bwʼanaabaako kyʼabagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe yʼazeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”

4Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

5 “Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli nga muwombeefu, nga yeebagadde omwana gwʼendogoyi.’ ”

6Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira.

7Ne baleeta endogoyi nʼomwana gwayo, ne baaliirako engoye zaabwe ku ndogoyi, nʼagyebagala.

8Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo nʼabalala ne batema amatabi gʼemiti ne bagaalira mu luguudo.

9 Ebibiina ebyamukulembera, nʼebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti, “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. “Ozaana waggulu ennyo!”

9“Ozaana Omwana wa Dawudi!

10Awo Yesu bwe yayingira mu, Yerusaalemi ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”

11Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi ekyʼomu Ggaliraaya.”

12Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abasuubuzi bonna nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi nʼentebe zʼabaali batunda amayiba.

13 Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’[16]

14Awo abazibe bʼamaaso nʼabalema ne bajja gyʼali mu Yeekaalu nʼabawonya.

15Naye bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baalaba ebyʼekitalo bye yakola, nʼabaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

16 Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu nʼabaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, ‘Abaana abato nʼabawere abayonka balimutendereza!’ ”

17Nʼabaviira, nʼafuluma mu kibuga nʼagenda e Besaniya, nʼasula eyo.

18Awo enkeera bwe yali ngʼaddayo mu kibuga enjala nʼemuluma,

19nʼalengera omutiini ku mabbali gʼekkubo, nʼagutuukako nʼatasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. Nʼagugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.

20Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”

21Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwʼoba nʼokukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino nʼebisingawo. Oyinza nʼokulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo.

22Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

23Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne bajja gyʼali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”

24Yesu nʼaddamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino.

25Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’ ”

26“Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi,”

27Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe ku baddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”

28“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, nʼagamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro yʼemizabbibu leero.’

29“Omulenzi nʼaddamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza nʼagenda.

30“Ate kitaabwe nʼagenda eri omulala nʼamugamba ekintu kye kimu. Naye ye nʼaddamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye nʼatagenda.

31“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?” Ne bamuddamu nti, “Omulenzi owʼolubereberye.” Awo Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza bʼomusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

32Kubanga Yokaana yajja ngʼabuulira ekkubo eryʼobutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza bʼomusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”

33“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, nʼagyetoolooza olukomera, nʼasimamu essogolero, nʼazimbamu nʼomunaala, nʼagipangisa abalimi ne yeetambulira.

34Ekiseera kyʼamakungula bwe kyatuuka, nʼatuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.

35“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, nʼomulala ne bamutta, nʼomulala ne bamukasuukirira amayinja.

36Ate nʼabatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri yʼemu nga bali abaasooka.

37Oluvannyuma nʼabatumira mutabani we, ngʼalowooza nti Bajja kumussaamu ekitiibwa.

38“Naye abalimi bwe baalaba omwana ngʼajja ne bateesa nti, ‘Ono yʼagenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’

39Bwe batyo ne bamufulumya ebweru wʼennimiro yʼemizabbibu ne bamutta.

40Kale nannyini nnimiro yʼemizabbibu bwʼalikomawo alibakola atya?”

41Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro yʼemizabbibu nʼagipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”

42 Awo Yesu nʼababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lyafuulibwa ejjinja ekkulu eryʼoku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’

43“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.

44Oyo alyesitala nʼagwa ku lwazi, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

45Awo bakabona abakulu nʼAbafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo bʼayogerako.

46Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>