Matayo 22:1-46 LGCB2014 - Bible AI

1Yesu nʼaddamu nʼayogera nabo mu ngero ngʼagamba nti,

2“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga eyʼobugole.

3Nʼatuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ne batayagala kujja.

4“Kabaka nʼabatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange nʼente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

5“Naye ne batassaayo mwoyo, omu nʼalaga mu nnimiro ye, omulala nʼalaga mu bya busuubuzi bye.

6Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta.

7Awo Kabaka nʼasunguwala, nʼayungula ekibinja kyʼabaserikale nʼazikiriza abatemu abo, nʼayokya ekibuga kyabwe.

8“Awo kabaka nʼagamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo kyʼembaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira.

9Noolwekyo mugende mu nguudo zʼomu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’

10Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi nʼabalungi, ekisenge kyʼembaga ne kijjula abagenyi.

11“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, nʼalaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga.

12Kabaka nʼamubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina kyʼaddamu.

13“Awo kabaka nʼalagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono nʼamagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’

14“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

15Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo.

16Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu nʼAbakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ngʼoli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu.

17Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiriwa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba nedda?”[17]

18Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, nʼabagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa?

19Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali.

20Nʼababuuza nti, “Kino ekifaananyi nʼobuwandiike ebiriko byʼani?”

21Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, nʼebya Katonda mubiwenga Katonda.”

22Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

23Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti,

24“Omuyigiriza Musa yagamba nti ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda wʼomufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’

25Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda owʼolubereberye nʼawasa, kyokka nʼafa nga tazadde mwana, bwʼatyo mukazi we nʼafumbirwa muganda we.

26Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku wʼomusanvu.

27Oluvannyuma nʼomukazi oyo naye nʼafa.

28Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”

29Naye Yesu nʼabagamba nti, “Olwʼobutamanya byawandiikibwa nʼobutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama.

30Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu.

31Naye ebikwata ku kuzuukira kwʼabafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ngʼagamba nti,

32 ‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

33Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.

34Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko ebyʼokwogera, ne bakuŋŋaana.

35Omu ku bo eyali munnamateeka nʼamubuuza ekibuuzo ngʼamugezesa nti,

36“Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”

37 Yesu nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼobulamu bwo bwonna, nʼamagezi go gonna.’

38Eryo lyʼetteeka eryʼolubereberye era lye Iisingira ddala obukulu.

39 Nʼeryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’

40Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

41Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu nʼababuuza nti,

42“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”

43Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ngʼajjudde Omwoyo bwʼayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we,’ ngʼagamba nti,

44 Mukama yagamba Mukama wange nti Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi wʼebigere byo?”

45“Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?”

46Ne wataba nʼomu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>