Matayo 23:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼayogera eri ebibiina nʼabayigirizwa be ngʼagamba nti,

2“Abawandiisi nʼAbafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa.

3Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba.

4Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo nʼokugezaako tebagezaako kukwatako nʼengalo yaabwe.

5“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo[18] omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba.

6Baagala nnyo ebifo ebyʼoku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo ebyʼekitiibwa mu makuŋŋaaniro.

7Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu nguudo zʼomu kibuga nʼokuyitibwa ‘Labbi.’

8“Temweyitanga ‘Labbi[19],’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda.

9Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.

10Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo.

11Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe.

12Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

13“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.

14“Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti Muli batuukirivu nga musaba essaala, so ngʼate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe.

15Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bwʼakyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.

16“Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe bʼamaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’

17Mmwe abatalina magezi abazibe bʼamaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu?

18Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bwʼalayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’

19Mmwe abazibe bʼamaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu?

20Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto nʼebikiriko byonna,

21era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu.

22Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira nʼentebe ya Katonda eyʼobwakabaka nʼoyo yennyini agituulako.

23“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekirabo ekyʼekitundu ekyʼekkumi ku buli kantu okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu ebyʼamateeka, ngʼobwenkanya, nʼokusaasira nʼokukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu ekyʼekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira.

24Mmwe abakulembeze abazibe bʼamaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!

25“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kwʼekikopo ne kungulu kwʼebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu nʼokwefaako mwekka.

26Mmwe Abafalisaayo abazibe bʼamaaso! Musooke mulongoose munda wʼekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.

27“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ngʼamalaalo agatemagana kungulu,[20] songa munda gajjudde amagumba gʼabafu nʼobuvundu obwa buli ngeri.

28Mulabika ngʼabantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi nʼobumenyi bwʼamateeka.

29“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi amalaalo, ne mutimba ebijjukizo, byʼabatuukirivu,

30ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gwʼabannabbi.’

31Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana bʼabo abatta bannabbi.

32Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.

33“Mmwe emisota! Abaana bʼembalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena?

34Kyenva mbaweereza bannabbi, nʼabasajja abʼamagezi, nʼabawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, nʼabalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe.

35Bwe mutyo omusango gwʼokutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu nʼekyoto, ne gubasingira ddala.

36Ddala ddala mbagamba nti Ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.

37“Ayi Yerusaalemi, Yerusaalemi ggwe ekibuga ekitta bannabbi, nʼokuba amayinja abo bonna abaakutumirwa, emirundi mingi njagadde nnyo okuwambaatira abaana bo ngʼennyonyi bwʼewambaatira abaana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye nʼogaana.

38Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa.

39 Kubanga nkugamba nti Toliddayo kundaba nate, okutuusa ngʼoyogedde nti ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>