Matayo 24:1-51 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yali ngʼava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja wʼali okumulaga enzimba ya Yeekaalu,

2naye nʼabagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”

3Awo Yesu bwe yali ngʼatudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo nʼenkomerero yʼensi nti eri kumpi?”

4Yesu nʼabaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba.

5Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi.

6Munaatera okuwulira entalo nʼeŋŋambo zʼentalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.

7Amawanga galirwana ne gannaago, nʼobwakabaka bulirwana nʼobwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi.

8Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ngʼeyʼokulumwa okuzaala.”

9“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olwʼerinnya lyange.

10Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, nʼabalala baliryamu bannaabwe olukwe, nʼabalala ne bakyawagana.

11Era bannabbi abʼobulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi.

12Olwʼobujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola.

13Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.

14Era Enjiri eyʼobwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna nʼoluvannyuma enkomerero nʼeryoka etuuka.”

15 “Noolwekyo bwe muliraba ‘ekyʼomuzizo ekyʼentiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere,

16nʼabo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.

17Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu.

18Nʼoyo alibeera mu nnimiro taddanga mu maka kunona lugoye lwe.

19Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, nʼabaliba bayonsa mu nnaku ezo.

20Naye musabe ekiseera kyʼokudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti.

21Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana.

22Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde nʼomu alokolebwa. Naye olwʼabalonde be ennaku ezo zirikendezebwako.

23Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga.

24Kubanga bakristo abʼobulimba balijja ne bannabbi abʼobulimba nabo balijja ne bakola ebyamagero ebyʼekitalo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye nʼabalonde ba Katonda.

25Laba mbalabudde nga bukyali!”

26“Noolwekyo omuntu bwʼabagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge ebyʼomunda, temukkirizanga.

27Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kwʼeraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, nʼokujja kwʼOmwana wʼOmuntu bwe kutyo.

28Era mukimanyi nti Awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

29 “Amangu ddala ngʼokubonyaabonyezebwa kwʼomu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era nʼomwezi teguliyaka, nʼemmunyeenye zirigwa nʼamaanyi gʼeggulu galinyeenyezebwa.’ ”

30“Oluvannyuma lwʼebyo akabonero kʼOmwana wʼomuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kwʼamawanga gonna agʼomu nsi, era baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja ku bire byʼeggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene.

31Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi eryʼomwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olwʼeggulu okutuuka ku ludda olulala.”

32“Kale muyigire ku lugero lwʼomutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti Ebiseera ebyʼebbugumu bisembedde.

33Bwe kityo nammwe, bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.

34Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ngʼebintu ebyo byonna bituukiridde.

35Eggulu nʼensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

36“Tewali nʼomu amanyi lunaku wadde essaawa enkomerero wʼerituukira. Ne bamalayika abʼomu ggulu nabo tebakimanyi, newaakubadde Omwana naye takimanyi wabula Kitaffe yekka.

37Kubanga nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, okujja kwʼOmwana wʼOmuntu nakwo bwe kuliba.

38Nga bwe kyali mu biseera byʼamataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa nʼabalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa nʼayingira mu lyato,

39abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo nʼokudda kwʼOmwana wʼOmuntu bwe kulibeera.

40Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu nʼatwalibwa omulala nʼalekebwa.

41Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba yʼemu, omu nʼatwalibwa omulala nʼalekebwa.”

42“Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lwʼaliddirako temulumanyi.

43Nga ssemaka bwʼakuuma amaka ge nga yeekuuma omubbi, nʼasigala ngʼatunula, nʼataganya mubbi kumuyingirira,

44nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana wʼomuntu alijjira mu ssaawa gye mutamulowoolezaamu.”

45“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu abʼomu maka ge, nʼokubawa emmere mu kiseera ekituufu?

46Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gwʼalisanga ngʼakola bwʼatyo.

47Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebibye byonna.

48Naye obanga omuddu omubi bwʼagamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’

49nʼadda ku baddu banne nʼabakuba, nʼalya, nʼanywa nʼabatamiivu, okutuusa lwʼalidda.

50Mukama wʼomuddu oyo nʼakomawo ku lunaku lwʼatamusuubidde ne mu kiseera kyʼatamanyi,

51alimutemamu ebitundu bibiri, ebitundu bye nʼabiteeka awamu nʼabannanfuusi, eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>