Matayo 25:1-46 LGCB2014 - Bible AI

1“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nʼabawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.

2Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba bʼamagezi.

3Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe.

4Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe agʼokweyambisa wamu nʼettaala zaabwe.

5Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.

6“Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’

7“Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe.

8Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’

9“Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’

10“Naye baali baakagenda anaawasa omugole nʼatuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo.

11Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’

12Naye nʼabaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

13“Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”

14“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa nʼolugero lwʼomusajja eyali agenda olugendo, nʼayita abaddu be nʼabalekera ebintu bye.

15Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri nʼowookusatu emu, ngʼageraageranya ngʼokusobola kwa buli omu bwe kwali. Bwʼatyo ne yeetambulira.

16Omusajja eyafuna ttalanta ettaano nʼazisuubuzisa nʼafunamu ttalanta ttaano endala.

17Nʼoyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye nʼaviisaamu endala biri.

18Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna nʼagenda nʼaziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.

19“Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama wʼabaddu abo nʼakomawo. Nʼayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera.

20Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano nʼajja nʼamuleetera ttalanta endala ttaano ngʼagamba nti,

21“Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano. Mukama we nʼamugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’

22“Eyalekerwa ttalanta ebiri naye nʼajja, nʼategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’

23“Mukama we nʼamugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’

24“Omusajja eyalekerwa ttalanta emu nʼajja, nʼagamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bwʼoli omuntu omuzibu, okungulira gyʼotaasigira era okuŋŋaanyiza gyʼotaasaasaanyiza.

25Olwʼokutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’

26“Naye mukama we nʼamugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti Ndi muntu akungulira gye ssaasigira,

27wanditadde ttalanta yange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’

28“Nʼalagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi.

29Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, nʼebyo byʼalina ebitono birimuggyibwako.

30Nʼomuddu oyo ataliiko kyʼagasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’

31“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye.

32Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi.

33Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo nʼembuzi ku gwa kkono.

34“Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi.

35Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza,

36nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

37“Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala ne tukuliisa? Oba ngʼolina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa?

38Oba ngʼoli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ngʼoli bwereere, ne tukwambaza?

39Twakulaba ddi ngʼoli mulwadde oba ngʼoli mu kkomera ne tukulambula?’

40“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

41“Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be.

42Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa,

43nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’

44“Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

45“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’

46“Abo baligenda ku kibonerezo ekyʼemirembe nʼemirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>