Matayo 26:1-75 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, nʼagamba abayigirizwa be nti,

2“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga eyʼOkuyitako. Omwana wʼOmuntu aliweebwayo akomererwe.”

3Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu,

4nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte.

5Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera ekyʼEmbaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.

6Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya,

7ngʼali ku mmeeza, omukazi nʼajja gyʼali ngʼalina eccupa yʼamafuta agʼakaloosa agʼomuwendo omungi,[21] nʼagafuka ku mutwe gwa Yesu.

8Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta agʼomuwendo gatyo!

9Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi nʼazigabira abaavu.”

10Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, nʼabagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi.

11Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.

12Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika.

13Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olwʼekikolwa kino. Ekikolwa kyʼomukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gyʼeneebuulirwanga.”

14Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi nʼababiri nʼagenda eri bakabona abakulu.

15Nʼababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.

16Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda nʼanoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.

17Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ezʼEmbaga eyʼEmigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga yʼOkuyitako tukugiteekereteekere wa?”

18Yesu nʼabaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, Omuyigiriza agambye nti ‘Ekiseera kyange kituuse, era Embaga eyʼOkuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu nʼabayigirizwa bange.’ ”

19Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Embaga.

20Akawungeezi ako Yesu bwe yali ngʼatudde

21ku mmere nʼabayigirizwa be ekkumi nʼababiri, nga balya nʼabagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”

22Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu nʼabuuza nti, “Ye nze?”

23Yesu nʼaddamu nti, “Akozezza nange mu kibya, yʼoyo.

24Mutegeere nti Omwana wʼOmuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana wʼOmuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”

25Yuda anaamulyamu olukwe nʼamubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu nʼamuddamu nti, “Oyogedde.”

26Bwe baali balya, Yesu nʼaddira omugaati nʼagusabira omukisa, nʼagumenyaamenyamu nʼagabira abayigirizwa be, nʼagamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

27Bwʼatyo nʼasitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, nʼabawa ngʼagamba nti, “Munywe ku kino mwenna,

28kubanga guno gwe musaayi gwange ogwʼendagaano oguyiika ku lwʼabantu abangi, olwʼokusonyiyibwa ebibi.

29Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

30Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

31 Awo Yesu nʼabagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira. Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba nʼendiga zʼomu kisibo kye ne zisaasaana.’

32Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”

33Peetero nʼamuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”

34Yesu nʼamugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.”

35Peetero nʼamugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe nʼafa, naye sijja kukwegaana nʼakamu kokka.” Nʼabayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

36Awo Yesu nʼagenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane nʼabagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.”

37Nʼatwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, nʼatandika, okuwulira ennaku nnyingi nʼokweraliikirira ennyo.

38Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”

39Nʼabaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, nʼagwa wansi ngʼavuunise amaaso ge ku ttaka, nʼasaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.”

40Nʼaddayo eri abayigirizwa be nʼabasanga nga beebase. Nʼagamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange nʼessaawa emu?

41Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

42Nʼabavaako omulundi ogwokubiri akabanga nʼagenda nʼasaba ngʼagamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale kyʼoyagala kye kiba kikolebwa.”

43Nʼakomawo nate gye bali nʼabasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo.

44Nʼabaleka nʼagenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.

45Ate nʼakomawo awali abayigirizwa nʼabagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ngʼekiseera kituuse Omwana wʼOmuntu aweebweyo mu mikono gyʼabalina ebibi.

46Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”

47Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi nʼababiri, nʼatuuka ngʼalina ekibiina kyʼabantu abaali babagalidde ebitala nʼemiggo nga batumiddwa bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya.

48Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti Omuntu gwʼanaalamusa nga yʼoyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata.

49Amangwago nʼajja eri Yesu nʼamulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” nʼamunywegera.

50Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola kyʼojjiridde.”[22] Awo abalala ne bakwata Yesu.

51Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu nʼasowolayo ekitala kye nʼasalako okutu kwʼomuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.

52Naye Yesu nʼamulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala.

53Tomanyi nti Nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?

54Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

55Mu kiseera ekyo Yesu nʼabuuza ekibiina nti, “Ndi ngʼomumenyi wʼamateeka owʼakabi ennyo, nʼokujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala nʼemiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.

56Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.

57Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde.

58Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ngʼali walako emabega wʼekibiina; nʼatuuka mu luggya lwʼennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, nʼatuula awaali abaweereza ngʼalinda okutegeera ebinaavaayo.

59Bakabona abakulu nʼAbasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obwʼobulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo ekyʼokufa.

60Kyokka ne bafunayo batono abʼobujulirwa obwʼobulimba. Nʼevumbukayo babiri

61abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’”

62Awo Kabona Asinga Obukulu nʼayimirira nʼabuuza Yesu nti, “Tolina kyʼoddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?”

63Naye Yesu nʼasirika busirisi. Ate Kabona Asinga Obukulu, nʼamuddira ngʼamugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda,”

64Yesu nʼaddamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼakomawo ku bire ebyʼeggulu.”

65Kabona Asinga Obukulu, nʼayuza ebyambalo bye, nʼagamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ngʼakyogera!

66Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

67Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi,

68nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye yʼaluwa?”

69Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala nʼajja awali Peetero nʼamugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, owʼe Ggaliraaya.”

70Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ngʼagamba nti, “Kyʼoyogerako sikimanyi.”

71Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi nʼoluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala nʼamulaba, nʼagamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu owʼe Nazaaleesi.”

72Peetero era nʼakyegaana, nga kwʼatadde nʼokulayira nga bwʼagamba nti, “Nze oyo nʼokumumanya simumanyi.”

73Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja wʼali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olwʼenjogera yo.”

74Peetero nʼatandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ngʼagamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko nʼekookolima.

75Awo Peetero nʼajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” Nʼafuluma ebweru ngʼakaaba nnyo amaziga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>