Matayo 27:1-66 LGCB2014 - Bible AI

1Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu.

2Ne bamusiba, ne bamuweereza ewa Piraato eyali gavana Omuruumi.

3Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, nʼazzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya,

4ngʼagamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”

5Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza nʼaziyiwa mu Yeekaalu nʼafuluma nʼagenda yeetuga!

6Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.”

7Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo ekyʼokuziikangamu abagwira.

8Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro yʼOmusaayi” nʼokutuusa leero.

9Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula,

10 ne bagulamu ennimiro eyali eyʼababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”

11Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde.”

12Naye bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula.

13Piraato kwe kumubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?”

14Naye Yesu nʼataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.

15Gavana yalina empisa eyʼokusumulula omusibe omu mu kiseera ekyʼEmbaga yʼOkuyitako, ngʼomusibe oyo abantu be baamweronderanga.

16Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ngʼerinnya lye ye Balaba.

17Awo Piraato nʼabuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?”

18Kubanga yamanya ngʼabakulembeze bʼAbayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.

19Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we nʼamutumira nʼobubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa nʼekirooto ekyʼomuntu oyo.”

20Naye bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba yʼaba ateebwa, naye Yesu attibwe.

21Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”

22Piraato nʼababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu nʼaddamu nti, “Akomererwe!”

23Piraato nʼababuuza nti, “Lwaki, kiki kyʼasobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”

24Awo Piraato bwe yalaba ngʼensoga talina gyʼaziraza, ate ngʼebibiina byagala kusasamala, nʼatumya amazzi, nʼanaaba engalo ze mu maaso gʼekibiina nga bwʼagamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olwʼomusaayi gwʼomuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”

25Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”

26Awo Piraato nʼasumulula Balaba nʼabamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko nʼamuwaayo bamukomerere.

27Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lwʼolubiri lwa Piraato ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna.

28Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu,

29ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka wʼAbayudaaya!”

30Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe.

31Ebyʼokumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.

32Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu.

33Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi kʼEkiwanga,”

34ne bawa Yesu omwenge ogutabuddwamu omususa, naye bwe yakombako nʼagugaana.

35 Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

36Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma.

37Ne bawanika ekipande waggulu wʼomutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU, KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

38Waaliwo nʼabanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, nʼomulala ku kkono.

39Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe

40nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”

41Bakabona abakulu nʼabawandiisi ne bamuduulira, nga bagamba nti,

42“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bwʼali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!

43Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’”

44Nʼabanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.

45Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ezʼolweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza.

46 Ku ssaawa nga mwenda Yesu nʼayogerera waggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

47Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

48Amangwago omu nʼadduka nʼaddira ekyangwe nʼakinnyika mu mwenge omukaatuufu nʼakiteeka ku muti, nʼakimuwa anuuneko.

49Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja nʼamulokola.”

50Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu nʼeddoboozi eddene, nʼawaayo omwoyo gwe.

51Era laba! Eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi nʼekankana, nʼenjazi ne zaatika.

52Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira,

53era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.

54Omuserikale omukulu wʼekibinja kyʼabaserikale ekikumi, nʼabaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kwʼensi ngʼokwa musisi, nʼebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”

55Waaliwo nʼabakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso.

56Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina wʼabaana ba Zebbedaayo.

57Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ngʼava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu.

58Nʼagenda eri Piraato nʼasabayo omulambo gwa Yesu. Piraato nʼalagira bagumuwe.

59Yusufu nʼatwala omulambo nʼaguzinga mu lugoye olulungi olwa linena,

60nʼagugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, nʼaddira ejjinja eddene nʼaliyiringisiza mu mulyango gwʼentaana nʼaggalawo, ne yeetambulira.

61Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi nʼentaana.

62Enkeera, ngʼolunaku olusooka mu nnaku zʼEmbaga yʼOkuyitako luweddeko, bakabona abakulu nʼAbafalisaayo ne bagenda eri Piraato,

63ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ngʼakyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’

64Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti Azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga nʼekyasooka.”

65Piraato nʼabaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.”

66Bwe batyo ne bateeka akabonero akʼenvumbo ku jjinja eryaggala omulyango gwʼentaana, ne bateekawo nʼabakuumi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>