Matayo 28:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ngʼobudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.

2Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ngʼokwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu nʼayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gwʼentaana, nʼalituulako.

3Amaaso ge gaali gamasamasa ngʼokumyansa kwʼeraddu, nʼekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku.

4Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ngʼabafudde.

5Awo malayika nʼagamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa,

6wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa.

7Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era agenda Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”

8Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be.

9Bwe baali bagenda, amangwago Yesu nʼayimirira mu maaso gaabwe! Nʼabalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza.

10Awo Yesu nʼabagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”

11Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo.

12Awo abakulembeze bʼAbayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi.

13Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.”

14Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.”

15Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, nʼokutuusa ku lunaku lwa leero.

16Awo abayigirizwa ekkumi nʼomu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga.

17Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa!

18Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.

19 Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.

20Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo nʼokutuukira ddala ensi lwʼeriggwaawo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>