1Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza nʼajja ngʼabuulira mu ddungu lyʼe Buyudaaya ngʼagamba nti,
2“Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu bunaatera okutuuka.”
3
4Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. Nʼemmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
5Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira byʼabuulira.
6Nʼababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi nʼAbasaddukaayo nga bajja okubatizibwa nʼabagamba nti, “Mmwe, abaana bʼessalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
8Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.
9Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu!
10Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala, gutemebwa gusuulibwe mu muliro, gugye.”
11“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu nʼomuliro.
12Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
13Awo Yesu nʼava e Ggaliraaya nʼajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana.
14Naye Yokaana nʼayagala okugaana, nʼagamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gwʼojja gye ndi?”
15Yesu nʼamuddamu nti,
16Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka nʼalaba Omwoyo wa Katonda ngʼamukkako mu kifaananyi kyʼejjiba.
17Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”