Matayo 4:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼatwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani.

2Nʼamala ennaku amakumi ana ngʼasiiba, nga talya, emisana nʼekiro, oluvannyuma enjala nʼemuluma.

3Setaani nʼajja gyʼali nʼamugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”

4 Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

5Awo Setaani nʼamutwala mu kibuga ekitukuvu nʼamussa ku kitikkiro kya Yeekaalu.

6 Nʼamugamba nti,

6“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”

7 Yesu nʼaddamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”

8Ate Setaani nʼamutwala ku lusozi oluwanvu nʼamulengeza ensi zonna nʼobwakabaka bwamu nʼekitiibwa kyabwo kyonna,

9nʼamugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bwʼonoovuunama nʼonsinza.”

10 Yesu nʼaddamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gwʼoweerezanga.’ ”

11Setaani nʼamuviira nʼagenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

12Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera nʼagenda e Ggaliraaya.

13Bwe yava e Nazaaleesi nʼagenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lwʼennyanja mu byalo byʼe Zebbulooni nʼe Nafutaali.

14Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ngʼagamba nti,

15“Ensi ya Zebbulooni nʼensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja, nʼebyalo ebiri emitala wʼomugga Yoludaani, nʼe Ggaliraaya eyʼekyengulu omuli bannaggwanga abangi,

16 abantu abaatuulanga mu kizikiza, balabye Omusana mungi. Abaatuulanga mu nsi eyʼekisiikirize ekyʼokufa, omusana gubaakidde.”

17Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.”

18Yesu bwe yali ngʼatambula ku lubalama lwʼennyanja yʼe Ggaliraaya nʼalaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi.

19Awo Yesu, nʼabagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi bʼabantu.”

20Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

21Bwe yeeyongerayo katono, nʼasanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo nʼabayita bamugoberere.

22Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

23Yesu nʼabuna wonna mu Ggaliraaya ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, era ngʼawonya buli ndwadde yonna nʼobuyongobevu bwonna mu bantu.

24Amawulire agʼebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, nʼabalina ebibabonyaabonya, nʼabʼensimbu nʼabo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye nʼabʼendwadde endala ezitali zimu, bonna nʼabawonya.

25Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[3] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, nʼemitala wʼomugga Yoludaani.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.