1 Awo Yesu bwe yalaba ngʼebibiina byeyongera obungi, nʼalinnya ku lusozi, abayigirizwa be ne bajja gyʼali,
2 nʼabayigiriza ngʼagamba nti:
3 “Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.
4 Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.
5 Balina omukisa abeetoowaze, kubanga abo balisikira ensi.
6 Balina omukisa abalumwa enjala olwʼobutuukirivu kubanga abo balikkusibwa.
7 Balina omukisa abʼekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8 Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.
9 Balina omukisa abatabaganya, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10 Balina omukisa abayigganyizibwa olwʼobutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.”
11 “Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze.
12 Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi abʼedda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”
13 “Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa nʼebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.
14 “Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi.
15 Era omuntu takoleeza ttabaaza ate nʼagisaanikirako ekisero, wabula agiteeka ku kikondo nʼemulisiza bonna abali mu nju.
16 Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
17 “Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza.
18 Ddala ddala mbagamba nti Eggulu nʼensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira.
19 Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, nʼayigiriza nʼabalala okukola bwe batyo, yʼalisembayo mu bwakabaka obwʼomu ggulu.
20 Naye mbalabula nti Okuggyako ngʼobutuukirivu bwammwe businga obwʼAbafalisaayo nʼobwʼabawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”
21 ⓚ “Mwawulira abʼedda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’
22 Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lwʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼawozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.
23 “Bwʼobanga oli mu maaso ga Katonda, ngʼomuleetedde ekirabo ekyʼokuwaayo nga ssaddaaka, nʼojjukira nga waliwo gwʼolinako ensonga,
24 ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.
25 “Tegeeragananga mangu nʼoyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, nʼomulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, nʼomuserikale okukuteeka mu kkomera.
26 Nkutegeeza nti Olibeera omwo okutuusa lwʼolimalayo byonna byʼobanjibwa.”
27 ⓛ “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’
28 Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi nʼamwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.
29 Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ngʼebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena.
30 Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ngʼekitundu kyʼomubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena nʼebitundu byʼomubiri gwo byonna.
31 ⓜ Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa eyʼokumugoba.’
32 Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olwʼobwenzi anaabanga amwenzesezza, nʼoyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”
33 “Mwawulira bwe kyagambibwa abʼedda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’
34 Naye mbagamba nti: Temulayiranga nʼakatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe yʼobwakabaka bwa Katonda.
35 Temulayiranga nsi, kubanga yʼentebe yʼebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga kyʼekibuga kya Kabaka omukulu.
36 Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu.
37 Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bwʼogezaako okukakasa ebigambo byo nʼokulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”
38 ⓝ “Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bwʼanaggyangamu eriiso lya munne nʼerirye linaggibwangamu. Oba omuntu bwʼanaaggyangamu erinnyo lya munne, nʼerirye banaalikuulangamu.’
39 Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bwʼakukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga nʼettama eryokubiri.
40 Omuntu bwʼayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga nʼekkooti yo.
41 Nʼoyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako nʼeyokubiri.
42 Akusaba omuwanga, nʼoyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”
43 ⓞ “Mwawulira abʼedda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’
44 Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya!
45 Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi nʼababi, era nʼenkuba agitonnyeza abʼamazima nʼabatali ba mazima.
46 Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? Nʼabawooza bwe bakola bwe batyo.
47 Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki nʼabalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo.
48 Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bwʼali Omutuukirivu.”
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.