1“Mwegendereze, ebikolwa byammwe ebyʼobutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lwʼabantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
2“Bwʼobanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo yʼempeera yaabwe.
4Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
5“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo yʼempeera yokka gye balifuna.
6Naye ggwe bwʼobanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo nʼosabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa byʼomusabye.
7Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ngʼabatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi nʼemirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu.
8Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
9Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,Kitaffe ali mu ggulu,Erinnya Lyo litukuzibwe.
10Obwakabaka bwo bujje.Byʼoyagala bikolebwe mu nsi,nga bwe bikolebwa mu ggulu.
26Mulabire ku nnyonyi ezʼomu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu mawanika, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?