1 “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango.
2 Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”
3 “Ofaayo ki ku kati akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba?
4 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki?
5 Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bwʼoggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
6 “Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. Nʼembizzi temuzisuuliranga mayinja agʼomuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, nʼoluvannyuma zikyuke zibalume.”
7 “Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
8 Kubanga buli asaba aweebwa, na buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo.”
9 “Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja?
10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota?
11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
12 Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu babakolerenga nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
13 “Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi.
14 Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”
15 “Mwekuume abayigiriza abʼobulimba, abajja nga bambadde amaliba gʼendiga, songa munda gyʼemisege egigenda okubataagulataagula.
16 Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ngʼomuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo.
17 Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi.
18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, nʼomuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi.
19 Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.
20 Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”
21 “Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala.
22 Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’
23 Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”
24 “Noolwekyo buli awulira ebigambo byange nʼabikola alifaananyizibwa ngʼomusajja owʼamagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
25 Enkuba nʼetonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye nʼetegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26 Naye buli awulira ebigambo byange nʼatabikola, alifaananyizibwa ngʼomusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu.
27 Enkuba nʼetonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, nʼegwa, nʼokugwa kwayo ne kuba kunene.”
28 Awo Yesu nʼamaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olwʼokuyigiriza kwe.
29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ngʼabannyonnyozi bʼamateeka baabwe bwe baayigirizanga.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.