Matayo 8:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yava ku lusozi ekibiina kinene ne kimugoberera.

2Omusajja omugenge nʼajja gyʼali nʼamuvuunamira ngʼagamba nti, “Mukama wange, bwʼobanga oyagala oyinza okunnongoosa.”

3Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwatako nʼamugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja nʼawona ebigenge.

4Yesu nʼamugamba nti, “Laba, tobaako muntu nʼomu gwʼobuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo nʼekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”

5Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu wʼekitongole kyʼabaserikale ekikumi, nʼajja nʼamwegayirira,

6ngʼagamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ngʼakoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.”

7Yesu nʼamuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.”

8Omukulu wʼekitongole nʼagamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona!

9Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, nʼomulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, nʼomuddu wange nti, ‘Kola kino,’ era akikola.”

10Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, nʼagamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri!

11Mbagamba nti bangi baliva mu buvanjuba ne mu bugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

12Naye abaana bʼobwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

13Awo Yesu nʼagamba omukulu wʼekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bwʼokkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we nʼawonerawo mu kiseera ekyo.

14Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ngʼagalamidde ku kitanda.

15Yesu nʼamukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, nʼagolokoka nʼamuweereza.

16Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. Nʼayogera bwogezi kigambo baddayimooni nʼabagoba, era nʼawonya nʼabalala bonna abaali balwadde.

17 Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti:

17“Yatuwonya endwadde zaffe, era nʼatwala obunafu bwaffe.”

18Awo Yesu bwe yalaba ngʼekibiina ekimwetoolodde kinene nʼalagira bawunguke balage ku ludda olulala.

19Omu ku bawandiisi bʼamateeka nʼamusemberera nʼamugamba nti, “Omuyigiriza, nnaagendanga naawe buli gyʼonoogendanga yonna!”

20Yesu nʼamuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, nʼennyonyi ezʼomu bbanga zirina ebisu, naye Omwana wʼOmuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”

21Omuyigirizwa we omu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okuziika kitange.”

22Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”

23Yesu nʼayingira mu lyato nʼabayigirizwa be.

24Awo omuyaga mungi ogwʼamaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase.

25Abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!”

26Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” Nʼagolokoka nʼaboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja nʼeteeka.

27Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga nʼennyanja gwe biwulira?”

28Awo bwe yatuuka emitala wʼeri mu nsi yʼAbagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gyʼali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo.

29Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ngʼekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”

30Walako ne we baali waaliwo eggana lyʼembizzi[6] nga zirya,

31baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana lyʼembizzi.”

32Yesu nʼagamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo.

33Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, nʼebyʼabasajja abaaliko baddayimooni.

34Abantu bʼomu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.