Matayo 9:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼasaabala mu lyato nʼawunguka nʼatuuka mu kibuga kyʼewaabwe, Kaperunawumu.

2Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe nʼagamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!”

3Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!”

4Yesu nʼamanya bye balowooza. Nʼabagamba nti, “Lwaki mubeera nʼebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe?

5Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi.

6Naye mutegeere nga Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo nʼagamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!”

7Nʼayimirira ngʼawonye, ne yeddirayo eka.

8Naye abantu abaali mu bibiina bwe baalaba ekyamagero kino ne beewuunya nnyo! Ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkaniddaawo!

9Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo nʼalaba omuntu, erinnya lye Matayo, ngʼatudde mu kifo we basolooleza omusolo, nʼamugamba nti, “Ngoberera.” Bwʼatyo naye nʼasitukiramu nʼagoberera Yesu.

10Awo Yesu bwe yali ngʼatudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi nʼabantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti Babi ne bajja ne batuula naye nʼabayigirizwa be ku mmere ne balya.

11Naye Abafalisaayo bwe baakiraba, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki Mukama wammwe alya nʼabawooza nʼabantu abalina ebibi?”

12Yesu bwe yawulira nʼabaddamu nti, “Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde.

13 Mugende muyige amakulu gʼEkyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe nʼebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti Batuukirivu.”

14Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe nʼAbafalisaayo bwe tukola?”

15Yesu nʼababuuza nti, “Mikwano gyʼomugole bayinza okunakuwala ngʼomugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.

16“Tewali muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye lukadde, kubanga, ekiwero bwe kyetugga kiyuza olugoye olukadde, nʼekituli ne kigaziwa.

17Era tewali ateeka wayini musu mu nsawo ezʼamaliba enkadde. Ensawo[7] enkadde zaabika wayini nʼayiika nʼensawo ne zoonooneka. Wayini omusu bamuteeka mu nsawo zʼamaliba maggya, byombi ne bitayonooneka.”

18Bwe yali ngʼakyayogera nabo omufuzi nʼajja, nʼamusinza nʼamugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja nʼomukwatako anaalamuka.”

19Yesu bwe yasituka nʼabayigirizwa be okugenda mu maka gʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro,

20Omukazi eyali alwadde ekikulukuto kyʼomusaayi, okumala emyaka kkumi nʼebiri, nʼajja emabega we nʼakoma ku kyambalo kye.

21Kubanga yʼagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”

22Yesu nʼakyuka nʼalaba omukazi nʼamugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olwʼokukkiriza kwo.” Omukazi nʼawonera mu kiseera ekyo.

23Awo Yesu bwe yatuuka mu maka gʼomufuzi nʼasanga abafuuyi bʼamakondeere nʼekibiina nga kijagaladde,

24nʼagamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza.

25Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu nʼayingira, nʼakwata omukono gwʼomuwala, nʼagolokosa omuwala.

26Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.

27Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe bʼamaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

28Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja wʼali. Yesu nʼababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”

29Awo nʼakoma ku maaso gaabwe nʼabagamba nti, “Kale, olwʼokukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.”

30Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu nʼabakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna.

31Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

32Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni.

33Yesu nʼamugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala nʼayogera. Abantu bonna ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

34Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!”

35Yesu nʼagenda ngʼayita mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo, ne mu byalo ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka. Era buli we yatuukanga nʼawonya abalwadde nʼabakoozimbye bonna.

36Awo bwe yatunuulira ekibiina kyʼabantu nga bajja gyʼali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ngʼendiga ezitalina musumba, nʼabasaasira nnyo.

37Nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ebyʼokukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono.

38Noolwekyo musabe nannyini nnimiro aweereze abakunguzi mu nnimiro ye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.