2Muwulire mmwe abantu mwenna, muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu, Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ngʼalina byʼabalumiriza.
3Mulabe, Mukama ajja ngʼava mu ggulu ku ntebe ye ngʼakka ku nsi ngʼatambulira ku nsozi waggulu.
4Nʼensozi zirisaanuukira wansi wʼebigere bye era nʼebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka ngʼebisenge byʼemizindu byʼenjuki ebyokeddwa omuliro, ngʼamazzi gʼekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
5Bino byonna biribeerawo olwʼokwonoona kwa Yakobo, olwʼebibi byʼennyumba ya Isirayiri. Ekibi kya Yakobo kye kiruwa? Si ye Samaliya? Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda? Si Yerusaalemi?
5
6“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu, kifuuke nga ennimiro eyʼokusimbamu emizabbibu. Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu Nʼemisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
7Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa; ebintu byonna ebyaweebwayo ngʼebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro; ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera. Ngʼebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
8Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe, ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya. Ndikaaba ngʼekibe, ne nkuba ebiwoobe ngʼabaana bʼekiwuugulu.
9Ekiwundu kye tekiwonyezeka, ne Yuda kyʼalwadde. Kituukidde ddala ku mulyango gwʼabantu bange, ne ku Yerusaalemi yennyini.
10Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba maziga nʼakatono. Mwevulungulire mu nfuufu mu Besuleyafula.
11Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde, mmwe ababeera mu Safiri. Ababeera mu Zanani tebalifuluma. Beswezeeri ekuba ebiwoobe, kubanga tokyalinayo buddukiro.
12Abo abʼomu Malosi bali mu kulumwa okwʼamaanyi nga balindirira okubeerwa, kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama, ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi mmwe ababeera mu Lakisi. Mmwe nsibuko yʼekibi mu Bawala ba Sayuuni, kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14Noolwekyo muligabira Molesesu ekyʼe Gaasi ebirabo ebimusiibula. Ebibuga byʼe Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba eri bakabaka ba Isirayiri.
15Mmwe abantu bʼomu Malesa, ndibasindikira alibawangula nʼabafuga. Oyo ekitiibwa kya Isirayiri alijja mu Adulamu.
16Mukungubage, nʼemitwe mugimwe olwʼabaana bammwe be mwesiimisa; mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ngʼegyʼensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.