Mikka 2:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.

2Beegomba ebyalo ne babitwala, ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olwʼamaanyi, ne bamubbako ebyobusika bwe.

3Mukama kyava agamba nti, “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, ke mutagenda kweggyamu. Temuliddayo kubeera nʼamalala nate kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.

4Olwo abantu balikusekerera; Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olwʼokukungubaga nti: ‘Tugwereddewo ddala; ebintu byʼabantu bange bigabanyizibbwamu. Mukama anziggirako ddala ettaka lyange, nʼaliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”

4

5Noolwekyo tewalisigalawo muntu nʼomu mu kuŋŋaaniro lya Mukama, aligabanyaamu ettaka ku bululu.

6Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi, Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo; tewali kabi kagenda kututuukako.”

7Ekyo kye kyʼokuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo? Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?

8Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko ngʼomulabe. Basika ne bambula eminagiro emirungi ne baggigya ku migongo gyʼabayise ababa beetambulira mu mirembe, ngʼabasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.

9Bakazi bʼabantu bange mubagoba mu mayumba gaabwe amalungi, abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa oguva eri Katonda.

10Muyimuke mugende, kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; olwʼebikolwa ebibi bye mukijjuzza, kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.

11Omuntu bwʼajja nʼomwoyo ogwʼobulimba, nʼagamba nti, “Ka mbabuulire ku ssanyu lyʼomwenge gwe baagala era gwe banoonya,” oyo yʼaba nnabbi wʼabantu abo.

11

12“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. Ndibakuŋŋaanya ngʼakuŋŋaanya endiga ezʼomu ddundiro, ngʼekisibo mu ddundiro lyakyo, ekifo kirijjula abantu.

13Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, abayise mu mulyango abafulumye. Era kabaka waabwe alibakulembera, Mukama alibakulembera.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>