Mikka 3:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, mmwe abafuzi bʼennyumba ya Isirayiri. Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,

2mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; mmwe ababaagako abantu bange eddiba ne mubaggyako ennyama ku magumba?

3Mulya ennyama yaabwe, ne mubabaagako eddiba, amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya, era ne mubasalaasala ngʼennyama eneefumbibwa mu nsaka.”

3

4Balikoowoola Mukama, naye talibaanukula. Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge olwʼebibi bye bakoze.

5Bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.

6Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, nʼenzikiza ebajjire awatali kulagulwa. Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, nʼobudde bubazibirire.

7Abalabi baliswazibwa nʼabalaguzi bakwatibwe ensonyi. Bonna balibikka amaaso gaabwe kubanga Katonda tabaanukula.”

7

8Naye nze, nzijjudde amaanyi nʼOmwoyo wa Mukama, okwekaliriza ensonga nʼobuvumu, njasanguze eri Yakobo olwʼebikolwa bye ebibi byʼakola, olwʼekibi kya Isirayiri.

9Mumpulirize mmwe abakulembeze bʼennyumba ya Yakobo, Mmwe abafuzi bʼennyumba ya Isirayiri, Mmwe abanyooma obwenkanya Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;

10mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi, Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.

11Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti, “Mukama tali naffe? Tewali kinaatutuukako.”

12Noolwekyo ku lwammwe, Sayuuni eririmibwa ngʼennimiro, ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu, nʼakasozi okuli yeekaalu kafuuke ngʼakabira akakutte.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>