1Mu nnaku ezʼoluvannyumaolusozi lwʼennyumba ya Mukama luligulumizibwaokusinga ensozi zonna;lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.Alituyigiriza byʼayagalatulyoke tutambulire mu makubo ge.”Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,nʼekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3Aliramula amawangaatereeze ensonga wakati wʼamawanga gakirimaanyi agʼewala.Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,nʼamafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4Buli muntu aliba mu ddembe wansi wʼomuzabbibu gwene mu mutiini gwe.Tewalibaawo abatiisakubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5Newaakubadde nga amawanga gonnagaligoberera bakatonda baago,naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya MukamaKatonda waffe emirembe nʼemirembe.
7Abalema ndibafuula abalonde,nʼabo be nagoba, mbafuule eggwanga eryʼamaanyi.Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuniokuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
8Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga,ggwe ekigo ekyʼamaanyi ekya Muwala wa Sayuuni,ekitiibwa kyo ekyʼedda kirikuddira,nʼobwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
10Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuningʼomukazi alumwa okuzaala.Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibugaogende obeere ku ttale.Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,era eyo gye ndibalokolera.Ndibanunulira eyookuva mu mukono gwʼomulabe.