Mikka 5:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye, kubanga tulumbiddwa. Omukulembeze wa Isirayiri balimukuba omuggo ku luba.

2“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ngʼoli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda nʼedda, ngʼensi tennabaawo.”

2

3Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana, era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo eri bannaabwe mu Isirayiri.

3

4Aliyimirira nʼanyweera nʼaliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa kyʼerinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero yʼensi.

5Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe. Omwasuli bwʼalirumba ensi yaffe nʼabuna ebigo byaffe, tulimuyimbulira abasumba musanvu, nʼabakulembeze munaana.

6Abo be balifuga ensi ya Asuli nʼekitala era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone. Naye alitulokola eri Omwasuli bwʼalitulumba mu nsi yaffe era bwʼaliyingira mu nsalo zaffe.

6

7Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera wakati mu mawanga agabeetoolodde, babe ngʼomusulo oguva eri Mukama, ngʼobukubakuba obutonnyeredde ku muddo obutalindirira muntu oba abaana bʼabantu.

8Ngʼempologoma bwʼebeera nʼensolo endala ezʼomu nsiko, abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde; ate era ngʼempologoma ento mu bisibo byʼendiga, bwʼegenda nʼeyitamu nʼetaagulataagula ne wataba nʼomu aziwonya.

9Omukono gwo guliwangula abalabe bo, ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.

10“Ku lunaku olwo,” bwʼayogera Mukama, “Ndizikiriza embalaasi zo ne nsanyaawo nʼamagaali go.

11Ndizikiriza ebibuga ebyʼomu nsi yo era mmenyemenye nʼebigo byo byonna.

12Obulogo bwo ndibumalawo era toliddayo kukolima nate.

13Nʼebibumbe bye musinza ndibizikiriza. Ne nziggyawo nʼamayinja ge mwawonga; temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda be mwekoledde nʼemikono gyammwe.

14Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe, ebibuga byammwe nʼembizikiriza.

15Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde nʼobusungu nʼekiruyi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>