Mikka 6:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Muwulire Mukama byʼayogera ngʼagamba nti, “Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso gʼensozi, nʼobusozi buwulire bye mugamba.

2Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama kyʼabavunaana; nammwe emisingi gyʼensi egyʼolubeerera muwulire. Mukama alina ensonga ku bantu be era agenda kuwawabira Isirayiri.”

2

3“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze? Nnali mbazitooweredde? Munziremu.

4Nabaggya mu nsi ye Misiri ne mbanunula mu nsi eyʼobuddu, ne mbawa Musa, ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.

5Mmwe abantu bange mujjukire ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu nʼebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera. Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama ebyʼobutuukirivu.”

5

6“Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa? Mmusemberere nʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼennyana ezaakamala omwaka ogumu?

7Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi, oba emitwalo gyʼemigga gyʼamafuta? Mpeeyo omwana wange omubereberye olwʼebibi byange, nga mpaayo ekibala kyʼomubiri gwange olwʼekibi ekyʼemmeeme yange?

8Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi kyʼoteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki kyʼakwetaaza, okuggyako okukola ebyʼensonga, okuba nʼekisa era nʼokutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.”

8

9“Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi eryʼomwanguka, kya magezi ddala okutya erinnya lye, nʼokussaayo omwoyo eri okukangavvula nʼeri oyo akangavvula.

10Nnyinza okwerabira ebyʼobugagga bye mwefunira, mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu, erina nʼekigera ekitatuuka ekyʼomuzizo?

11Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, alina ensawo ezʼebipimo ebyʼobulimba?

12Abagagga baakyo bakambwe nʼabatuuze baamu balimba nʼennimi zaabwe tezoogera mazima.

13Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza, nkumalewo olwʼebibi byo.

14Onoolyanga, naye nʼotokutta, era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu kyʼotereka kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.

15Olisiga naye tolikungula, oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako, olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.

16Olwʼokuba ngʼokolera ku biragiro bya Omuli nʼogoberera nʼebikolwa byonna ebyʼennyumba ya Akabu nʼogoberera nʼemizizo gyabwe, kyendiva nkufuula ekifulukwa, nʼabantu bo bonna babeere ekyʼokuduulirwa era olibaako ekivume kyʼamawanga.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>