11Olunaku olwʼokuzimba bbugwe wo lulituuka,olunaku olwʼokugaziya ensalo yo.
12Mu biro ebyo abantu balijja gyʼolinga bava mu Bwasuli ne mu bibuga byʼe Misiri,nʼokuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,nʼokuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,nʼokuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
14Lunda abantu bo nʼomuggo gwo,ekisibo kye weeroboza,ababeera bokka mu kibiramu malundiro amagimu.Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera ebyʼedda.
14
15Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,nzija kubalaga ebikulu ebyʼekitalo.
15
16Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,ne gamalibwamu amaanyi.Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwenʼamatu gaabwe ne gaziba.
17Balirya enfuufu ngʼomusota,ngʼebisolo ebyewalula.Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankanane bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18Katonda ki omulala ali nga ggwe,asonyiwa ekibi era nʼasonyiwa ebyonoono byaboabaasigalawo ku bantu be?Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,naye asanyukira okusaasira.