Nakkumu 1:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1 Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.

2Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga. Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi. Mukama yeesasuza ku balabe be era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.

3Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi era tayinza nʼakatono butabonereza oyo gwe gusinze. Ekkubo lye liri mu mpewo eyʼakazimu ne mu kibuyaga, nʼebire ye nfuufu yʼebigere bye.

4Akangavvula ennyanja nʼagikaza era akaza emigga gyonna, ennimiro ezʼomu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse, nʼebimuli bya Lebanooni biwotose.

5Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge, ensi nʼekankana nʼabantu bonna abagirimu.

6Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ngʼasunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe obwʼamaanyi? Ekiruyi kye kibuubuuka ngʼomuliro, nʼenjazi nʼeziyatikayatika.

6

7Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera ekyʼokulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.

8Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu, ekizikiza kiribawondera.

8

9Buli kye mwekobaana okukola Mukama, alikikomya. Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.

10Kubanga baliba ngʼamaggwa agakwataganye, era nga batamidde, balyoke bookebwe omuliro ngʼekisambu ekikalu.

11Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu alowooza akabi era ateesa ebibi ku Mukama.

12Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi, balizikirizibwa ne baggwaawo. Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange, siriddayo kukikola nate.

13Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko era nʼebibasibye nnaabikutulakutula.”

13

14Kino Mukama kyalagidde ekikwata ku Nineeve: “Erinnya lyo terikyayala nate. Ndizikiriza ekifaananyi ekyole nʼekifaananyi ekisaanuuse ebiri mu masabo gʼabakatonda bo; ndisima entaana yo kubanga oyinze obugwagwa.”

14

15 Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba, ebigere ebirungi ebyʼoyo aleese amawulire amalungi, alangirira emirembe. Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, era otuukirize obweyamo bwo; omubi kaakano takyakulumba, azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>